Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 12
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 12
Oluyimba 29
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv sul. 11 ¶10-19
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 4-6
Na. 1: Ekyamateeka 4:15-28
Na. 2: Okujjukira Yakuwa n’Omwana We (lr-E sul. 37)
Na. 3: Ddi Lwe Kiyinza Okugambibwa nti Okuba n’Ebitono Kye Kisinga Obulungi? (Nge. 15:16)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okuyigiriza Abayizi ba Baibuli. Kwogera okwesigamiziddwa ku ebyo ebiri mu katabo Organized, olupapula 98, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 99, akatundu 1. Saba ababuulizi boogere mu bufunze essanyu lye bafunye mu kuyigiriza omuntu amazima.
Ddak. 10: Ebitabo eby’Okugaba mu Okitobba. Lagayo ebyokulabirako bibiri. Ekisooka, omubuulizi asaanidde okulekawo ekibuuzo ky’anaddamu ku mulundi omulala. Ekirala kisaanidde okulaga engeri y’okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ku mulundi ogusooka. Saba abawuliriza boogere mu bufunze bye bayize mu buli kyakulabirako.
Ddak. 10: “Oli Mwetegefu Okubuulira Embagirawo?” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 23