Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjulaayi 1
“Olowooza kisoboka okufuna emirembe mu mutima mu biseera bino ebizibu ennyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’egamba mu Abafiripi 4:6, 7. [Soma.] Ekitundu kino kinnyonnyola engeri gye tusobola okufuna emirembe Katonda gy’agaba.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
Awake! Jjulaayi
“Abasinga obungi ku ffe tusiima nnyo ebyo bazadde baffe bye baatuyigiriza. Ggwe olowooza tuba tetubassizzaamu kitiibwa bwe twekenneenya enjigiriza z’eddiini ze baatuyigiriza nga tukyali bato? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 1 Yokaana 4:1.] Ekitundu kino kiraga obanga kikyamu okukyusa eddiini yaffe.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 28.
The Watchtower Agusito 1
“Abantu abamu balowooza nti eddiini zonna makubo ag’enjawulo agatutuusa eri Katonda. Ggwe olowooza eddiini zonna ntuufu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 7:13, 14.] Magazini eno eraga ebintu bisatu ebiri mu Baibuli eddiini entuufu by’erina okukola.”
Awake! Agusito
“Ffenna abantu baali batusosoddeko. Ggwe olowooza Katonda atwala atya obusosoze? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Ebikolwa 10:34, 35.] Baibuli esobola okutuyamba bwe tuba nga tusosolwa. Era esobola okutuyamba okweggyamu obusosoze bwonna bwe tuyinza okuba nabwo. Magazini eno ennyonnyola bulungi ensonga eyo.”