Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 27
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 27
Oluyimba 34
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU ebyongerezeddwako ebiri ku lup. 215-218
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okubala 1-3
Na. 1: Okubala 3:1-20
Na. 2: Ensonga Lwaki Okuba Omuteefu Kyetaagisa Okwefuga
Na. 3: Katonda Wo y’Ani? (lr sul. 27)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 13
Ddak. 5: Ebirango n’Ebyo Ebyatuukibwako mu Buweereza bw’Ennimiro.
Ddak. 10: Kozesa Bulungi Ebibuuzo. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 236 okutuuka ku 237, akatundu 2. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ebikwata ku nsonga eziragiddwa mu kitundu ekyo.
Ddak. 10: Buuza ebibuuzo abazadde babiri oba basatu abassaawo ekyokulabirako ekirungi. Baŋŋanga batya ebyo ebiyinza okubalemesa okutuukiriza obuweereza bwabwe ng’amaka? Biki bye bakoze okuyamba abaana baabwe okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza bw’ennimiro? Bakozesezza batya enteekateeka y’Okusinza kw’Amaka okuyamba abaana baabwe mu nsonga eno?
Ddak. 10: “Mutendereze Yakuwa Buli Lunaku?” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 56