Weetegekedde Embaga ey’eby’Omwoyo?
1. Biki ebirina okukolebwa embaga okusobola okubaawo?
1 Waliwo bingi ebirina okukolebwa embaga okusobola okubaawo. Emmere eba erina okufunibwa, n’efumbibwa bulungi, era n’egabulwa. Emmere eno erina okugabulwa mu ngeri entegeke obulungi. Era n’ekifo w’eneegabulirwa kirina okuba nga kitegekeddwa bulungi. Abagenyi nabo balina okweteekateeka naddala bwe baba nga ba kuva mu bifo eby’ewala. Wadde nga kizingiramu eby’okukola bingi, okuliira awamu n’ab’emikwano era n’ab’eŋŋanda emmere ewooma era ezimba omubiri, kireeta essanyu lingi. Mu kiseera ekitali kya wala, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bajja kukuŋŋaana wamu mu bibinja ebinene n’ebitonotono okulya emmere ey’ebyomwoyo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olulina omutwe: “Mubeere Bulindaala!” Bingi ebikoleddwa okuteekateeka olukuŋŋaana luno. Ffenna twanirizibwa okubaawo. Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu, buli omu ku ffe kimwetaagisa okweteekateeka obulungi.—Nge. 21:5.
2. Kiki kye tulina okukola okusobola okubaawo mu bitundu byonna eby’embaga yaffe ey’eby’omwoyo?
2 Ganyulwa mu Bujjuvu: Omaze okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo mu bitundu byonna eby’embaga eno ey’eby’omwoyo? Bwe kiba kyetaagisa, tegeeza mukama wo ennaku zo tajja kubaawo ku mulimu kikusobozese okubaawo mu bitundu byonna eby’olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga mw’otwalidde n’olunaku olusooka. Omaze okukola enteekateeka ez’eby’entambula n’eby’ensula? Abakadde basaanidde okukakasa nti enteekateeka zikoleddwa okuyamba bannamukadde, abalwadde awamu n’abalala abeetaaga obuyambi.—Yer. 23:4; Bag. 6:10.
3. Lwaki tetusaanidde kugenda mu lukuŋŋaana lw’ensi yonna nga tetwayitibwa?
3 Ebitundu ebimu bijja kubaamu enkuŋŋaana z’ensi yonna. Kijjukire nti waliwo ebibiina ebimu n’abantu okuva mu nsi endala abayitiddwa okubaawo mu nkuŋŋaana zino. Mu kukola enteekateeka zino, ofiisi y’ettabi yasalawo dda omuwendo gw’abantu abalina okuyitibwa ng’esinziira ku muwendo gw’ebifo mwe banaatuula n’ebisenge bya wooteeri mwe banaasula. Wayinza okubaawo omujjuzo singa ababuulizi bagenda mu lukuŋŋaana lw’ensi yonna nga tebaayitibwa.
4. Biki ebinaatuyamba okweteekerateekera programu buli lunaku nga tennatandika?
4 Kola enteekateeka ezinaakusobozesa okutuuka nga bukyali buli lunaku era ofune n’aw’okutuula nga programu tennatandika. Ng’olukuŋŋaana terunnatandika, funayo obudakiika butonotono weetegereze ebiri mu kapapula ka programu y’olukuŋŋaana. Kino kijja kukusobozesa okuteekateeka omutima gwo osobole okugoberera obulungi ebiri mu programu. (Ezer. 7:10) Ssentebe bw’amala okwanjula obuyimba obusooka, buwulirize bulungi nga bwe weeteekerateekera oluyimba olusooka n’okusaba okuggulawo.
5. Ab’omu maka gaffe bayinza batya okuganyulwa mu bujjuvu mu programu?
5 Okutuula awamu ng’amaka nga muli mu lukuŋŋaana, kijja kusobozesa abazadde okuyamba abaana baabwe okussaayo omwoyo ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso. (Ma. 31:12) Bonna bakubirizibwa okugoberera mu Baibuli zaabwe ng’ebyawandiikibwa bisomebwa. Okubaako by’owandiika kiyinza okukuyamba okussaayo omwoyo. Oluvannyuma, ebyo by’onoowandiika bijja kukusobozesa okujjukira ensonga enkulu ezaali mu mboozi. Weewale okwogera oba okutambulatambula ekiteetaagisa ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso. Bw’oba olina akasimu ak’omu ngalo, kakasa nti tekakuwugula birowoozo oba okutaataaganya abalala. Buli lunaku ng’olukuŋŋaana luwedde, lwaki toyogerako n’abalala ku ebyo ebibadde programu?
6. Kintu ki ekikulu ennyo ekiba mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, era tuyinza tutya okukiganyulwamu mu bujjuvu?
6 Bwe tuba ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, tuba n’enkolagana ey’okulusegere ne baganda baffe awamu ne bannyinaffe etasangika walala wonna mu nsi. (Zab. 133:1-3; Mak. 10:29, 30) Tekyandibadde kirungi ne weeyanjula eri oyo akuliraanye era n’onyumyako naye mu biseera eby’ekyemisana? Guno gwe gumu ku miganyulo egiri mu kuleeta ekyemisana ekitonotono era n’osigala awali olukuŋŋaana mu kifo ky’okugenda okukigula. Kakasa nti tofiirwa kakisa kano ak’okuzziŋŋanamu amaanyi.—Bar. 1:11, 12.
7. Nteekateeka ki ze tusaanidde okukola ezikwata ku nnyambala?
7 Ennyambala: Kikulu okukitegeera nti Yakuwa yalagira Abaisiraeri okwekolera amatanvuuwa ku nkugiro z’ebyambalo byabwe era nga kuliko omuguwa gwa bululu. (Kubal. 15:37-41) Kino kyabasobozesa okujjukiranga nti baali bantu abaawuliddwawo olw’okusinza Yakuwa. Leero, bwe twambala engoye ezisaanira nga tuli ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti zitwawulawo okuva ku nsi. Ziwa obujulirwa bwa maanyi eri abo abatulaba ne bwe tuba nga tugenze okulya oluvannyuma lwa programu. N’olwekyo, lowooza nga bukyali ku ngoye z’onooyambala.
8. Tuyinza tutya okuwa abalala obujulirwa nga tuli mu kifo awanaabeera olukuŋŋaana lwa disitulikiti?
8 Wa Obujulirwa: Bwe tweteekateeka nga bukyali, kiyinza okutusobozesa okubuulira abantu abali mu kitundu awanaabeera olukuŋŋaana. Ow’oluganda omu eyagenda ne mukyala we mu kifo awatundirwa emmere oluvannyuma lwa programu, yasonga busonzi ku kabbaagi ke era n’abuuza omuweereza nti: “Olabye abantu bangi abambadde bubbaagi buno?” Omuweereza yamuddamu nti abalabye era abadde yeebuuza ensonga lwaki babwambadde. Ow’oluganda yamuwa obujulirwa era n’amuyita ku lukuŋŋaana olwo.
9. Tuyinza tutya okulaga okusiima kwaffe eri Yakuwa atuyise ku mbaga eno ey’eby’omwoyo?
9 Wadde nga waliwo ab’oluganda abanaawa emboozi, abanaabuuzibwa ebibuuzo, n’abanaalaga ebyokulabirako, Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, y’atutegekedde embaga eno ey’eby’omwoyo ebaawo buli mwaka. (Is. 65:13, 14) Tulaga nti tusiima Yakuwa bwe tubeerawo buli lunaku era ne tulya emmere yonna ey’eby’omwoyo gy’atugabudde. Omaze okukola enteekateeka zonna ezinaakusobozesa okubaawo?
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti
◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Abantu bayinza okutandika okutuuka awanaaba olukuŋŋaana ku ssaawa 2:00 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe kisobozese olukuŋŋaana okutandika mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 10:55 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo. Programu y’enkuŋŋaana z’ensi zonna ejja kutandika ku Lwokuna essaawa 7:20 okutuuka ku ssaawa 10:55 ez’olweggulo.
◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era ng’anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufiibwako. Abo bokka abalina obulemu ku mubiri be bajja okukkirizibwa okusimba ebidduka byabwe mu bifo ebibalekeddwawo. Okuva bwe kiri nti ebifo awatera okusimbibwa ebidduka biba bitono, kiba kirungi okukozesa entambula ey’awamu.
◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Abo bokka be watambudde nabo oba ab’omu maka go b’oyinza okukwatira ebifo.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera eby’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebbe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo n’ebyatika, tebikkirizibwa mu lukuŋŋaana.
◼ Okuwaayo: Bwe tuba mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu nkuŋŋaana ennene, tusobola okulaga okusiima kwaffe eri enteekateeka z’olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Ceeke zonna ezinaaweebwayo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, zisaanidde kuweebwayo mu linnya lya The Registered Trustees of Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.
◼ Obubenje n’Ebizibu Ebigwawo Obugwi: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde obw’amangu ng’ali mu lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku abo abaaniriza abagenyi. Ow’oluganda oyo ajja kutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi Obusookerwako kisobozese omulwadde okufuna obuyambi. Bwe kiba kyetaagisa, ekitongole ekyo kijja kusalawo eky’okukola mu mbeera ng’eyo.
◼ Engatto ez’Okwambalwa: Buli mwaka abantu bafuna ebisago bingi ebyekuusa ku ngatto ze baba bambadde. Mu kifo ky’okwambala engatto ez’ekisaazisaazi oba ezo ezitwalibwa ng’eziri ku mulembe, kiba kirungi ne twambala engatto ezisaanira era ezitutuuka obulungi ezinaatusobozesa okutambula obulungi ku madaala oba awalala wonna.
◼ Eby’amaloboozi: Tokkirizibwa kuyunga byuma ebikwata amaloboozi ku masannyalaze agali mu kifo awali olukuŋŋaana oba ku byuma by’amaloboozi ebikozesebwa mu lukuŋŋaana, naye oyinza okubikozesa mu ngeri etetaataaganye balala.
◼ Obugaali bw’Abaana: Obugaali obutambulizibwamu abaana abato tebusaanidde kuleetebwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Kyokka, obutebe bw’abaana abato obusobola okuteekebwa mu kifo okumpi n’abazadde, bukkirizibwa.
◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu zibeera munda mu bizimbe ebirimu ebyuma ebiyingiza empewo. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwamu bwe wabaawo omuntu yenna abuuliddwa embagirawo ku lukuŋŋaana era ng’ayagala okumanya ebisingawo. Ababuulizi basaanidde okujja ne foomu emu oba bbiri ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Foomu ezijjuziddwamu osobola okuziwaayo eri Ekitongole Ekikola ku Bitabo oba okuziwa omuwandiisi w’ekibiina kyo ng’ozzeeyo.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2005, lup. 6.
◼ Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Mu bitundu bingi, kiba kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo ebiba bikukoleddwa.
◼ Wooteeri: (1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa. (2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako. (3) Tofumbira mu bisenge bwe kiba nga tekkirizibwa. (4) Oyo alabirira ekisenge mw’osula mulekerewo akasiimo. (5) Tosaanidde kuddiibuuda ebyo ebiba bikuweereddwa okukozesa ku ky’enkya. (6) Fuba okwoleka ebibala by’omwoyo ng’okolagana n’abo abakola mu wooteeri. Bakola ku bagenyi bangi era kibayisa bulungi bwe tubalaga ekisa, obugumiikiriza n’obukkakkamu. (7) Singa ofuna ekizibu mu kisenge mw’osula, tegeeza Ekitongole Ekikola ku by’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.