Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 13
WIIKI ETANDIKA APULI 13
Oluyimba 17
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU ebyongerezeddwako okuva ku mutwe omutono oguli ku lup. 207 okutuuka ku mutwe omutono oguli ku lup. 209
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okuva 11-14
Na. 1: Okuva 12:21-36
Na. 2: Ensonga Lwaki Tusaanidde okusonyiwa (lr sul. 14)
Na. 3: Enjawulo Eriwo Wakati w’Okuwonya Okuliwo Leero n’Okwa Yesu n’Abatume Be (rs lup. 157 ¶4–lup. 158 ¶2)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 31
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Yogera ku ebyo ebituukiddwako ku lunaku olw’enjawulo olw’okutandika okuyiga n’abantu baibuli. Waayo ekyokulabirako kimu oba bibiri okuva mu kitundu kyammwe.
Ddak. 10: Beera Mwegendereza ng’Owa Obujulirwa. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono oguli ku lupapula 197 mu kitabo Ssomero ly’Omulimu. Laga ekyokulabirako ku ngeri omubuulizi gy’ayinza okuddamu omuntu awakanya obubaka bwaffe.
Ddak. 10: “Okubuulira Kutusobozesa Okusigala nga Tuli Banywevu mu by’Omwoyo.” Kubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 70