Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 9
WIIKI ETANDIKA MAAKI 9
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 2 ¶1-11
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 40-42
Na. 1: Olubereberye 40:1-15
Na. 2: Twetaaga Okuziyiza Ebikemo (lr sul. 9)
Na. 3: Weewale Omwoyo gwa Kyetwala!
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 23
Ddak. 5: Ebirango. Saba omubuulizi omu oba babiri baweeyo ekyokulabirako ku engeri gye baagabamu magazini era boogere n’ebirungi ebyavaamu.
Ddak. 15: Bwe Wabaawo Abaagala Okubannyonnyola. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku mutwe omutono ogutandikira ku lupapula 177 mu kitabo Ssomero ly’Omulimu. Laga ekyokulabirako ku ngeri omubuulizi gy’ayinza okuddamu ekibuuzo ekikwata ku nzikiriza zaffe ekiba kimubuuziddwa mukozi munne oba oyo gw’asoma naye. Omubuulizi addamu ekibuuzo kye ‘mu bukkakkamu era ng’amussaamu ekitiibwa.’—1 Peet. 3:15, NW.
Ddak. 15: “Weeteekereteekere Bulungi Ekijjukizo.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Bategeeze enteekateeka ezikoleddwa ezikwata ku Kijjukizo.
Oluyimba 24