Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 26
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 26
Oluyimba 12
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl-LU sul. 13 ¶1-8
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 17-20
Na. 1: Olubereberye 17:1-17
Na. 2: Ensonga Lwaki Abantu Balemereddwa Okussaawo Gavumenti ey’Obwenkanya (rs lup. 152-153 ¶1)
Na. 3: Katonda Alina Erinnya (lr sul. 4)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 57
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Jjanwali 1 ne Awake! eya Jjanwali. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe era bawe n’ensonga lwaki balowooza bwe batyo. Ng’okozesa ebimu ku bitundu ebyo, saba abawuliriza boogere ekibuuzo kye bayinza okukozesa okutandika okunyumya n’abantu n’ekyawandiikibwa kye bayinza okusoma okuva mu kitundu ekyo nga bagaba magazini ezo. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 4 oba ezo abawuliriza ze bawadde, fundikira ng’olaga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Ddak. 20: “Omaze Okusalawo Bujjanjabi Ki bw’Oyagala?”* Kya kukubirizibwa omukadde. Fundikira ng’osoma akatundu akasembayo. Bwe muba temulina vidiyo eno, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004 n’eya Okitobba 15, 2000, oba muyinza okukozesa ekitundu “Oli Mwetegefu Okwaŋŋanga Embeera Ezigezesa Okukkiriza kwo Ezikwata ku by’Obujjanjabi?” ekiri mu Obuweereza Bwaffe Obw’Obwakabaka aka Noovemba 1990.
Oluyimba 23
[Obugambo obuli wansi]
By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.