LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp20 Na. 2 lup. 8-10
  • Obwakabaka bwa Katonda Bulitandika Ddi Okufuga Ensi?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Obwakabaka bwa Katonda Bulitandika Ddi Okufuga Ensi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • BIKI YESU BYE YAYOGERAKO NTI BYANDIBADDEWO?
  • EBINTU EBYO BYONNA BIRAGA KI?
  • Okuzikirizibwa kw’Ensi Okwalagulibwa Kulijja Ddi?
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Tumanya Tutya nti Kalumagedoni Ali Kumpi?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Olusuku lwa Katonda Luli Kumpi!
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 2 lup. 8-10
Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa awa omukazi azze ku kagaali akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana.

Obwakabaka bwa Katonda Bulitandika Ddi Okufuga Ensi?

Abamu ku bagoberezi ba Yesu baayagala okumanya ddi Obwakabaka bwa Katonda lwe bunaatandika okufuga. Yesu yabagamba nti tebanditegedde kiseera kyennyini lwe bwanditandise okufuga. (Ebikolwa 1:6, 7) Naye emabegako, yali yabagamba nti bwe bandirabye ebintu ebimu nga bibaawo, bandibadde bategeera nti “Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi” okutandika okufuga ensi.​—Lukka 21:31.

BIKI YESU BYE YAYOGERAKO NTI BYANDIBADDEWO?

Yesu yagamba nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka. Walibaawo musisi ow’amaanyi, era walibaawo enjala n’endwadde ez’amaanyi mu bifo ebitali bimu.” (Lukka 21:10, 11) Ebintu ebyo byonna byandibadde kabonero akalaga nti “Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.” Ddala ebintu ebyo byonna bibaddewo mu kiseera kye kimu mu bifo ebitali bimu mu nsi yonna? Yee. Lowooza ku bukakafu buno.

1. ENTALO

Ttanka ennwanyi, ennyonyi ennwanyi, n’ebikompola.

Mu mwaka gwa 1914, waabalukawo olutalo olwali lutabangawo mu byafaayo! Bannabyafaayo batera okwogera ku mwaka gwa 1914 ng’omwaka gw’ebyafaayo, kubanga ogwo gwe mwaka Ssematalo eyasooka mwe yatandikira. Olwo lwe lutalo mwe baasooka okukozesa ttanka ennwanyi, ennyonyi ennwanyi, ebikompola, omukka ogw’obutwa, era n’eby’okulwanyisa ebirala nnamuzisa. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, waabalukawo ssematalo ow’okubiri mwe baakozeseza eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nnukiriya. Okuva mu 1914, wabaddewo entalo mu bifo ebitali bimu era abantu bukadde na bukadde bafiiridde mu ntalo ezo.

2. MUSISI

Musisi aleese enjatika mu bizimbe.

Ekitabo ekiyitibwa Britannica Academic kigamba nti buli mwaka wabaawo musisi wa mirundi nga 100 asobola “okwonoona ebintu.” Ate era ekitongole ky’Amerika ekinoonyereza ku butonde bw’ensi kigamba nti “okusinziira ku bizze bibaawo (okuva nga mu mwaka gwa 1900), tusuubira musisi ow’amaanyi wa mirundi nga 16 mu mwaka.” Wadde nga bannassaayansi abamu bagamba nti musisi alabika ng’eyeeyongedde olw’okuba balina ebibayamba okumanya nti ajja, ekituufu kiri nti, musisi ow’amaanyi abaawo mu nsi aleetedde abantu bangi okubonaabona era n’okufa.

3. ENJALA

Ekipande ekiraga okuddirira mu birime.

Ebiseera ebisinga, enjala eva ku ntalo, obulyi bw’enguzi, eby’enfuna okugootaana, ennima embi, oba obuteetegekera bulungi mbeera ya budde. Lipoota eyafulumizibwa ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’emmere mu 2018 egamba nti: “Okwetooloola ensi abantu bukadde 821 tebafuna mmere emala era abantu bukadde 124 tebalina mmere.” Endya embi eviirako abaana ng’obukadde busatu n’emitwalo kkumi okufa buli mwaka. Ku muwendo gw’abaana bonna abaafa mu mwaka gwa 2011, abaana 45 ku buli kikumi baafa olw’endya embi.

4. ENDWADDE

Obubonero obulaga obuwuka obuleeta endwadde.

Ekitabo ekyafulumizibwa ekitongole ky’ensi yonna eky’eby’obulamu kigamba nti: “Endwadde ez’amaanyi zibaluseewo mu kyasa ekya 21. Endwadde ezaaliwo edda gamba nga kolera, n’omusujja gw’enkaka, zizzeemu okubaawo era wabaluseewo n’endwadde endala ez’amaanyi gamba ng’obulwadde bw’ekiziyiro, ebola, ne zika.” Leero waliwo nʼekirwadde kya COVID-19. Wadde nga bannassaayansi balina bingi bye batuuseeko mu by’obujjanjabi, tebasobodde kumalawo ndwadde zonna.

5. OKUBUULIRA AMAWULIRE AMALUNGI MU NSI YONNA

Ensi eriko akasongezo akagyetoolodde era Bayibuli ebikuddwa eri kumpi nayo.

Yesu yayogera ku kintu ekirala ekyandiraze nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutuuka. Yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Wadde nga waliwo ebizibu bingi, abantu abasukka mu bukadde munaana okuva mu mawanga gonna babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi 240 era mu nnimi ezisukka mu 1,000. Ekyo kibadde tekibangawo mu byafaayo.

EBINTU EBYO BYONNA BIRAGA KI?

Ebintu byonna Yesu bye yayogera ebyandiraze nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja weebiri leero. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Kubanga Yesu yagamba nti: “Bwe mulabanga ebintu bino nga bibaawo, mumanyanga nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.”​—Lukka 21:31.

Yesu atudde ku ntebe y’Obwakabaka nga Kabaka mu ggulu, afuga ensi erabika obulungi.

Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi

Ebintu ebizze bibaawo Yesu bye yayogerako bituyamba okumanya nti Katonda yassaawo Obwakabaka mu ggulu mu mwaka gwa 1914.a Mu kiseera ekyo, yalonda Omwana we Yesu Kristo okuba Kabaka. (Zabbuli 2:2, 4, 6-9) Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kutandika okufuga ensi, era bujja kuggyawo obufuzi bw’abantu bwonna, bufuule ensi ekifo ekirabika obulungi ennyo abantu mwe bajja okubeera emirembe gyonna.

Mu kiseera ekitali kya wala, ebigambo bino ebiri mu ssaala Yesu gye yayigiriza abagoberezi be bijja kutuukirira: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Naye, Obwakabaka bwa Katonda bubadde bukola ki okuva lwe bwateekebwawo mu ggulu mu 1914? Era biki bye bunaakola bwe bunaaba butandise okufuga ensi?

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku mwaka gwa 1914, laba essomo 32 mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza