Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Okitobba 13
Oluyimba 77
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Bategeeze enteekateeka y’ekibiina ey’okwenyigira mu kaweefube ow’okugaba tulakiti ey’enjawulo okuva nga Okitobba 20, era kubiriza bonna okutwala tulakiti zaabwe bwe baba nga tebannakikola. Mu bufunze yogera ku nnyanjula eziri ku lupapula 8 eziraga engeri y’okugabamu Watchtower eya Ssebutemba 1 ne Awake! eya Ssebutemba. Okuva bwe kiri nti ababuulizi bangi baatandika dda okugaba magazini zino, saba abawuliriza boogere ku birungi bye baafuna.
Ddak. 35: “Enteekateeka Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekibiina.”a Ebiseera bwe bibaawo, soma ebyawandiikibwa ebiragiddwa era osabe abawuliriza babyogereko.
Oluyimba 18
Wiiki Etandika Okitobba 20
Oluyimba 48
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
Ddak. 20: Weeyongere Okuba n’Essanyu mu Buweereza. Kwogera okuzzaamu amaanyi nga kwesigamiziddwa ku ebyo ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2005, olupapula 30-31, obutundu 11-17. Buuza ebibuuzo ow’oluganda omu oba babiri abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Kiki ekibayambye okweyongera okuba abasanyufu ne bwe kiba nti abantu tebalaga kusiima?
Ddak. 20: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Okitobba 1 ne Awake! eya Okitobba. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe era bawe n’ensonga lwaki balowooza bwe batyo. Saba abawuliriza boogere ekibuuzo ekituukirawo kye bateekateeka okukozesa okutandika okunyumya n’abantu n’ekyawandiikibwa kye bayinza okusoma okuva mu kitundu ekyo nga bagaba magazini eyo. Fundikira ng’olaga engeri buli emu ku magazini ezo gy’eyinza okugabibwamu, ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 8 oba endala ezisobola okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe.
Oluyimba 63
Wiiki Etandika Okitobba 27
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 30: “Kikulu Nnyo Okwesomesa Baibuli n’Okugisomera Awamu ng’Amaka!”b Ebiseera bwe bibaawo, soma ebyawandiikibwa ebiragiddwa era osabe abawuliriza babyogereko.
Oluyimba 43
Wiiki Etandika Noovemba 3
Oluyimba 71
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Okitobba.
Ddak. 20: Essomero ly’Omulimu gwa Katonda mu 2009. Omulabirizi w’essomero akubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku nteekateeka empya ey’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eri mu ndagiriro ya Programu y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda esangibwa mu lupapula olw’omunda. Essira liteeke ku nkyukakyuka ezikoleddwa. Kubiriza bonna okufuba okuwa emboozi zaabwe, okuteekateeka okubaako bye baddamu mu kitundu eky’okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Baibuli, n’okussa mu nkola okuwabula okwesigamiziddwa ku kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda okuweebwa omulabirizi w’essomero buli wiiki.
Ddak. 15: Weeyongere Okulongoosa mu ‘Ngeri gy’Oyigirizaamu.’ Omulabirizi w’obuweereza oba omukadde omulala yenna ayogere mu bufunze ku bintu bitaano ebikulu ebisobozesa omuntu okuyigiriza obulungi ebiragibwa mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjanwali 15, 2008, akatundu 5-18, olupapula 9-12. Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abawulira nti ekitundu kino kibayambye okulongoosa mu ngeri gye bayigirizaamu.
Oluyimba 90
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.