LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/08 lup. 3-6
  • Programu Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2009

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Programu Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2009
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Emitwe emitono
  • ENDAGIRIRO
  • PROGRAMU
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 10/08 lup. 3-6

Programu Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2009

ENDAGIRIRO

Mu 2009, eno ye nteekateeka ejja okugobererwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

EBITABO EBY’OKUKOZESA: New World Translation of the Holy Scriptures [bi12], “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial” (Ekya 1990) [si], Learn From the Great Teacher [lr], ne Reasoning From the Scriptures (aka 1989) [rs].

Essomero lirina okutandika KU SSAAWA ZENNYINI n’okwaniriza abazze. Oluvannyuma lijja kweyongera mu maaso nga bwe kiragibwa wammanga. Buli luvannyuma lwa kitundu, akubiriza essomero ajja kwanjula ekitundu ekiddako.

OKUNOKOLAYO EBIMU KU BIBADDE MU KUSOMA BAIBULI: Ddakiika 10. Mu ddakiika ennya ezisooka, omukadde oba omuweereza alina ebisaanyizo asaanidde okunokolayo ebimu ku ebyo ebibadde mu kusoma Baibuli okwa wiiki eyo. Eno y’enkola ejja okugobererwanga okuggyako ng’okusoma Baibuli okwa wiiki eyo kutandika n’essuula esooka ey’ekitabo kya Baibuli. Okusoma Baibuli bwe kuba kutandika n’essuula esooka, ebyo ebinaayogerwako mu ddakiika ennya ezisooka birina kuva mu kitabo “All Scripture.” Ng’ekyokulabirako, essuula etaano ezisooka ez’ekitabo ky’Olubereberye zijja kusomebwa mu wiiki etandika nga Jjanwali 5, n’olwekyo omwogezi asaanidde okulonda ensonga enkulu entonotono okuva mu kitabo “All Scripture, mu kitundu ekyanjula ekitabo ky’Olubereberye.” Asaanidde okunnyonnyola ensonga ezo mu ngeri eneeganyula ekibiina. K’abe ng’ayogera ku ebyo ebibadde mu kusoma Baibuli okwa wiiki eyo oba ng’annyonnyola ensonga enkulu okuva mu kitabo “All Scripture,” ekigendererwa kye ekikulu kwe kuyamba abawuliriza okuganyulwa mu ebyo by’aba annyonnyola. Omwogezi talina kusussa ddakiika nnya ezirina okukozesebwa mu nnyanjula. Alina okukakasa nti alekayo eddakiika mukaaga kisobozese abawuliriza okubaako bye boogera mu bufunze mu butikitiki 30 oba n’obutawera ku ngeri gye baganyuddwamu mu kusoma Baibuli okwa wiiki. Oluvannyuma, akubiriza essomero ajja kusaba abayizi bagende gye banaaweera emboozi zaabwe.

EMBOOZI 1: Ddakiika 4 n’obutawera. Ekitundu kino kirina kuweebwa wa luganda. Omuyizi alina kusoma busomi ebyo ebimuweereddwa awatali kuwa nnyanjula oba okufundikira. Akubiriza essomero alina okufaayo okuyamba abayizi okusoma nga bategeera bye basoma, nga tebasikattira, nga baggumiza we kisaanira, nga bakyusakyusa mu ddoboozi, nga basiriikiriramu we kyetaagisiza, era nga boogera mu ngeri eya bulijjo.

EMBOOZI 2: Ddakiika 5. Ya kuweebwa mwannyinaffe. Omuyizi ajja kutegeezebwa embeera gy’asaanidde okwogereramu oba ye kennyini ayinza okwerondera emu ku ezo eziri ku lupapula 82 mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Omuyizi alina okukozesa omutwe ogumuweereddwa era n’okugutuukanya n’embeera emu esobola okubaawo mu buweereza bw’ennimiro mu kitundu kyammwe. Omuyizi bw’atalagibwa wa kuggya bya kwogerako, kijja kumwetaagisa okunoonyereza mu bitabo byaffe. Akubiriza essomero ajja kwetegereza nnyo engeri omuyizi gy’asengekamu by’ayogera n’engeri gy’ayambamu gw’ayogera naye okutegeera Ebyawandiikibwa n’ensonga enkulu. Akubiriza essomero ajja kumulondera oyo anaamuyambako.

EMBOOZI 3: Ddakiika 5. Emboozi eno eyinza okuweebwa ow’oluganda oba mwannyinaffe. Omuyizi asaanidde okwogera ku mutwe ogumuweereddwa. Bw’atalagibwa wa kuggya bya kwogerako, kijja kumwetaagisa okunoonyereza mu bitabo byaffe. Emboozi eno bw’eweebwa ow’oluganda, alina kwogera butereevu eri abamuwuliriza. Bw’eweebwa mwannyinaffe, kiba kimwetaagisa okugoberera enkola eragiddwa ku Mboozi 2. Weetegereze nti emitwe egiriko akamunyeenye girina kuweebwa baluganda bokka. Bwe kiba kisoboka, abakadde n’abaweereza be basaanidde okuweebwa ebitundu bino.

OKUWABULA: Ddakiika 1 oba 2. Akubiriza essomero tajja kusooka kwogera ssomo oyo agenda okuwa emboozi ly’akolako. Oluvannyuma lw’Emboozi 1, 2, ne 3, akubiriza essomero ajja kwogera ku birungi ebibadde mu mboozi eyo. Asaanidde okulaga ensonga lwaki omuyizi akoze bulungi era n’okujuliza ebyo ebiri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu. Okusinziira ku bwetaavu bwa buli muyizi, akubiriza essomero ayinza okuwabula omuyizi ng’olukuŋŋaana luwedde oba mu kiseera ekirala kyonna.

EBISEERA: Buli omu alina okukuuma ebiseera, nga mw’otwalidde n’oyo awabula. Abo abaweebwa Emboozi 1 okutuuka ku 3 balina okuyimirizibwa mu ngeri ey’amagezi nga basussizza mu biseera ebibaweereddwa. Singa ow’oluganda anokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Baibuli asussa mu biseera, asaanidde okuwabulwa mu kyama. Olukuŋŋaana lwonna lulina kutwala ddakiika 30.

FOOMU OKUWABULIRWA: Eri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu.

AYAMBA KU OYO AKUBIRIZA ESSOMERO: Akakiiko k’abakadde kayinza okulondayo omukadde omulala alina obumanyirivu, asobole okuyamba ku oyo akubiriza essomero. Ekibiina bwe kiba n’abakadde abawerako, buli mwaka obuvunaanyizibwa buno buyinza okuweebwa omukadde omulala. Obuvunaanyizibwa bw’ow’oluganda ono kwe kuwabula mu kyama ab’oluganda abanokolayo ebimu ku biba bisomeddwa mu Baibuli. Tekimwetaagisa kuwabula bakadde banne oba abaweereza buli lwe baba bawadde emboozi.

OKWEJJUKANYA: Ddakiika 20. Buli luvannyuma lwa myezi ebiri, omulabirizi w’essomero ajja kukubiriza okwejjukanya. Kujja kubangawo oluvannyuma lw’ekitundu eky’okunokolayo ebimu ku bisomeddwa mu Baibuli nga bwe kiragiddwa waggulu. Eby’okwejjukanya bijja kwesigamizibwa ku by’okuyiga ebibadde mu ssomero mu myezi ebiri egiyise, nga mw’otwalidde n’ebyo ebya wiiki eyo yennyini omuli okwejjukanya. Singa ekibiina kyammwe kiba n’olukuŋŋaana lw’ekitundu oba n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu mu wiiki erimu Okwejjukanya, okwejjukanya okwo kuba kulina kubaawo mu wiiki eddako, ate zo emboozi okuva ku 1 okutuuka 3 ezandibadde ku programu ya wiiki eddako ne zibaawo mu wiiki eyo. Tewali nkyukakyuka yonna esaanidde okukolebwa mu nteekateeka y’okusoma Baibuli okwa wiiki oba mu kitundu eky’okunokolayo ebimu ku bikulu ebibadde mu kusoma Baibuli.

PROGRAMU

Jan. 5 Okusoma Baibuli: Olubereberye 1-5

Na. 1: Olubereberye 3:1-15

Na. 2: Ensonga Lwaki Yesu Yali Muyigiriza Mulungi (lr sul. 1)

Na. 3: Kiki Ekitali kya Bwereere? (1 Kol. 15:58)

Jan. 12 Okusoma Baibuli: Olubereberye 6-10

Na. 1: Olubereberye 9:1-17

Na. 2: By’Oyinza Okuddamu Abo Abatakkiririza mu Katonda (rs lup. 150 ¶3–lup. 151 ¶3)

Na. 3: Ebbaluwa Okuva eri Katonda ow’Okwagala (lr sul. 2)

Jan. 19 Okusoma Baibuli: Olubereberye 11-16

Na. 1: Olubereberye 14:1-16

Na. 2: Oyo Eyatonda Byonna (lr sul. 3)

Na. 3: Yakuwa Atubumba Atya? (Is. 64:8)

Jan. 26 Okusoma Baibuli: Olubereberye 17-20

Na. 1: Olubereberye 17:1-17

Na. 2: Ensonga Lwaki Abantu Balemereddwa Okussaawo Gavumenti ey’Obwenkanya (rs lup. 152-153 ¶1)

Na. 3: Katonda Alina Erinnya (lr sul. 4)

Feb. 2 Okusoma Baibuli: Olubereberye 21-24

Na. 1: Olubereberye 22:1-18

Na. 2: “Ono Ye Mwana Wange” (lr sul. 5)

Na. 3: a Engeri Gye Tuyinza Okugaziwa mu Kwagala Kwaffe eri Abalala (2 Kol. 6:11-13)

Feb. 9 Okusoma Baibuli: Olubereberye 25-28

Na. 1: Olubereberye 25:1-18

Na. 2: Omuyigiriza Omukulu Yaweereza Abalala (lr sul. 6)

Na. 3: Ensonga Lwaki Gavumenti z’Abantu Tezisobola Kumalawo Bizibu (rs lup. 153 ¶2–lup. 154 ¶2)

Feb. 16 Okusoma Baibuli: Olubereberye 29-31

Na. 1: Olubereberye 29:1-20

Na. 2: Ensonga Lwaki Tusaanidde Okulekera awo ‘Okweraliikirira’ (Mat. 6:25)

Na. 3: Okuba Omuwulize kya Bukuumi Gy’oli (lr sul. 7)

Feb. 23 Okusoma Baibuli: Olubereberye 32-35

Okwejjukanya

Mak. 2 Okusoma Baibuli: Olubereberye 36-39

Na. 1: Olubereberye 39:1-16

Na. 2: Abalala ba Waggulu Okutusinga (lr sul. 8)

Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Bwe Bwokka Obujja Okugonjoola Ebizibu by’Abantu (rs lup. 154 ¶3–lup. 155 ¶1)

Mak. 9 Okusoma Baibuli: Olubereberye 40-42

Na. 1: Olubereberye 40:1-15

Na. 2: Twetaaga Okuziyiza Ebikemo (lr sul. 9)

Na. 3: b Weewale Omwoyo gwa Kyetwala!

Mak. 16 Okusoma Baibuli: Olubereberye 43-46

Na. 1: Olubereberye 44:1-17

Na. 2: Obuyinza Yesu bw’Alina ku Badayimooni (lr sul. 10)

Na. 3: Obunnabbi bwa Baibuli Bwesigika Nnyo (rs lup. 155 ¶2-5)

Mak. 23 Okusoma Baibuli: Olubereberye 47-50

Na. 1: Olubereberye 48:1-16

Na. 2: Ddala Tusaanidde Okutya Omulyolyomi?

Na. 3: Obuyambi bwa Bamalayika ba Katonda (lr sul. 11)

Mak. 30 Okusoma Baibuli: Okuva 1-6

Na. 1: Okuva 1:1-19

Na. 2: Yesu Atuyigiriza Okusaba (lr sul. 12)

Na. 3: Ddala Abo Abakola Ebyamagero eby’Okuwonya Leero Bakozesa Mwoyo gwa Katonda? (rs lup. 156-157 ¶3)

Apu. 6 Okusoma Baibuli: Okuva 7-10

Na. 1: Okuva 9:1-19

Na. 2: Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu (lr sul. 13)

Na. 3: c Tusobola Tutya Okukwataganya Abaggalatiya 6:2 ne Abaggalatiya 6:5?

Apu. 13 Okusoma Baibuli: Okuva 11-14

Na. 1: Okuva 12:21-36

Na. 2: Ensonga Lwaki Tusaanidde Okusonyiwa (lr sul. 14)

Na. 3: Enjawulo Eriwo Wakati w’Okuwonya Okuliwo Leero n’Okwa Yesu n’Abatume Be (rs lup. 157 ¶4–lup. 158 ¶2)

Apu. 20 Okusoma Baibuli: Okuva 15-18

Na. 1: Okuva 15:1-19

Na. 2: Biki Ekizingirwa mu Kwewala Okusinza okw’Obulimba?

Na. 3: Kye Tuyigira mu Kuba ow’Ekisa (lr sul. 15)

Apu. 27 Okusoma Baibuli: Okuva 19-22

Okwejjukanya

May. 4 Okusoma Baibuli: Okuva 23-26

Na. 1: Okuva 24:1-18

Na. 2: Kiki Ekisingayo Obukulu? (lr sul. 16)

Na. 3: Ebyawulawo Abakristaayo Ab’Amazima Leero (rs lup. 158 ¶3–lup. 159 ¶1)

May. 11 Okusoma Baibuli: Okuva 27-29

Na. 1: Okuva 29:1-18

Na. 2: Engeri y’Okuba Abasanyufu (lr sul. 17)

Na. 3: d Okunywerera ku Kintu Ekitali Kituufu n’Akabi Akakirimu

May. 18 Okusoma Baibuli: Okuva 30-33

Na. 1: Okuva 31:1-18

Na. 2: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Omu Kyasa Ekyasooka Baaweebwa Ebirabo eby’Okuwonya (rs lup. 159 ¶2–lup. 160 ¶2)

Na. 3: Weebaza Abalala? (lr sul. 18)

May 25 Okusoma Baibuli: Okuva 34-37

Na. 1: Okuva 37:1-24

Na. 2: Ddala Kirungi Okulwana? (lr sul. 19)

Na. 3: Okwekkiriranya Kye Ki, era Lwaki Tusaanidde Okukwewala?

Jun. 1 Okusoma Baibuli: Okuva 38-40

Na. 1: Okuva 40:1-19

Na. 2: Bulijjo Oyagala gw’Oba Osooka? (lr sul. 20)

Na. 3: Abantu Bonna Banaawonyezebwa Batya? (rs lup. 160 ¶3-5)

Jun. 8 Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 1-5

Na. 1: Eby’Abaleevi 4:1-15

Na. 2: Waliwo Ekintu Kyonna Ekyandituleetedde Okwewaana? (lr sul. 21)

Na. 3: e Abakristaayo Basaanidde Kukozesa Batya Obuyinza?

Jun. 15 Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 6-9

Na. 1: Eby’Abaleevi 8:1-17

Na. 2: ‘Okkiririza mu Byamagero eby’Okuwonyezebwa?’ (rs lup. 160 ¶6–lup. 161 ¶1)

Na. 3: Ensonga Lwaki Tetusaanidde Kulimba (lr sul. 22)

Jun. 22 Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 10-13

Na. 1: Eby’Abaleevi 11:29-45

Na. 2: Ensonga Lwaki Abantu Balwala (lr sul. 23)

Na. 3: Emikisa Egifunibwa Abayigirizwa Ababatize

Jun. 29 Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 14-16

Okwejjukanya

Jul. 6 Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 17-20

Na. 1: Eby’Abaleevi 19:1-18

Na. 2: Ddala Ffenna Twali mu Ttwale ery’Emyoyo nga Tetunnazaalibwa ng’Abantu? (rs lup. 161 ¶2–lup. 162 ¶3)

Na. 3: Tobbanga! (lr sul. 24)

Jul. 13 Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 21-24

Na. 1: Eby’Abaleevi 22:17-33

Na. 2: Ddala Abo Abakola Ebintu Ebibi Basobola Okukyuka? (lr sul. 25)

Na. 3: Engeri Abakristaayo ab’Amazima gye Balaga Okufaayo eri Abaavu

Jul. 20 Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 25-27

Na. 1: Eby’Abaleevi 25:39-54

Na. 2: Ensonga Lwaki Kizibu Okukola Ekirungi (lr sul. 26)

Na. 3: Singa Adamu Teyayonoona, Oluvannyuma Yandigenze mu Ggulu? (rs lup. 162 ¶4-5)

Jul. 27 Okusoma Baibuli: Okubala 1-3

Na. 1: Okubala 3:1-20

Na. 2: Ensonga Lwaki Okuba Omuteefu Kyetaagisa Okwefuga

Na. 3: Katonda Wo y’Ani? (lr sul. 27)

Agu. 3 Okusoma Baibuli: Okubala 4-6

Na. 1: Okubala 4:1-16

Na. 2: Engeri y’Okumanyaamu Oyo Gwe Tusaanidde Okugondera (lr sul. 28)

Na. 3: Ddala Kyetaagisa Omuntu Okugenda mu Ggulu Okusobola Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala? (rs lup. 163 ¶1-3)

Agu. 10 Okusoma Baibuli: Okubala 7-9

Na. 1: Okubala 9:1-14

Na. 2: Ddala Obubaga Bwonna Busanyusa Katonda? (lr sul. 29)

Na. 3: Engeri gye Twolekamu Obwesigwa Bwaffe eri Yakuwa

Agu. 17 Okusoma Baibuli: Okubala 10-13

Na. 1: Okubala 13:17-33

Na. 2: Ekituyamba Okuvvuunuka Okutya (lr sul. 30)

Na. 3: Makulu Ki Agali mu 1 Peetero 3:19, 20? (rs lup. 163 ¶4)

Agu. 24 Okusoma Baibuli: Okubala 14-16

Na. 1: Okubala 14:26-43

Na. 2: Kitegeeza Ki Okwagala Amateeka ga Katonda? (Zab. 119:97)

Na. 3: We Tuyinza Okufuna Okubudaabudibwa (lr sul. 31)

Agu. 31 Okusoma Baibuli: Okubala 17-21

Okwejjukanya

Seb. 7 Okusoma Baibuli: Okubala 22-25

Na. 1: Okubala 22:20-35

Na. 2: Engeri Yesu gye Yakuumibwamu (lr sul. 32)

Na. 3: Makulu Ki Agali mu 1 Peetero 4:6? (rs lup. 163 ¶5)

Seb. 14 Okusoma Baibuli: Okubala 26-29

Na. 1: Okubala 27:1-14

Na. 2: Kitegeeza Ki Okuteeka Endowooza mu Muntu, era Lwaki Kino Kikulu? (Bef. 6:4, NW )

Na. 3: Yesu Asobola Okutukuuma (lr sul. 33)

Seb. 21 Okusoma Baibuli: Okubala 30-32

Na. 1: Okubala 32:1-15

Na. 2: Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa? (lr sul. 34)

Na. 3: Ddala Abakristaayo Bonna Balina Essuubi ery’Okugenda mu Ggulu? (rs lup. 164 ¶1-3)

Seb. 28 Okusoma Baibuli: Okubala 33-36

Na. 1: Okubala 33:1-23

Na. 2: Tusobola Okuzuukira! (lr sul. 35)

Na. 3: Ebiraga nti Obwakabaka bwa Katonda Busingira Wala Nnyo Gavumenti z’Abantu

Okit. 5 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 1-3

Na. 1: Ekyamateeka 2:1-15

Na. 2: “Endagaano Empya” Eyogera Ki ku ky’Okufuna Obulamu Obutaggwaawo ku Nsi? (rs lup. 165 ¶1–lup. 166 ¶2)

Na. 3: Baani Abanaazuukizibwa? Banaabeera Ludda Wa? (lr sul. 36)

Okit. 12 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 4-6

Na. 1: Ekyamateeka 4:15-28

Na. 2: Okujjukira Yakuwa n’Omwana We (lr sul. 37)

Na. 3: Ddi Lwe Kiyinza Okugambibwa nti Okuba n’Ebitono Kye Kisinga Obulungi? (Nge. 15:16)

Okit. 19 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 7-10

Na. 1: Ekyamateeka 9:1-14

Na. 2: Ensonga Lwaki Tusaanidde Okwagala Yesu (lr sul. 38)

Na. 3: Baibuli Eraga nti Bameka Abalina Essuubi ery’Okugenda mu Ggulu? (rs lup. 166 ¶3-4)

Okit. 26 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 11-13

Okwejjukanya

Nov. 2 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 14-18

Na. 1: Ekyamateeka 15:1-15

Na. 2: Okutya Katonda Kizingiramu Ki?

Na. 3: Katonda Ajjukira Omwana We (lr sul. 39)

Nov. 9 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 19-22

Na. 1: Ekyamateeka 22:1-19

Na. 2: Engeri y’Okusanyusaamu Katonda (lr sul. 40)

Na. 3: Abayudaaya ab’Omubiri Be Bokka Abali mu 144,000? (rs lup. 166 ¶5–lup. 167 ¶3)

Nov. 16 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 23-27

Na. 1: Ekyamateeka 25:1-16

Na. 2: Abaana Abasanyusa Katonda (lr sul. 41)

Na. 3: f Bintu Ki bye Tusaanidde Okutwala nga Bitukuvu?

Nov. 23 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 28-31

Na. 1: Ekyamateeka 30:1-14

Na. 2: Ensonga Lwaki Twetaaga Okukola (lr sul. 42)

Na. 3: Ssuubi Ki Baibuli ly’Ewa ‘ab’Ekibiina Ekinene’? (rs lup. 167 ¶4–lup. 168 ¶1)

Nov. 30 Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 32-34

Na. 1: Ekyamateeka 32:1-21

Na. 2: ‘Olunaku Olukulu Olwa Yakuwa’ Kye Ki? (Zef. 1:14)

Na. 3: Baganda Baffe ne Bannyinaffe Be Baani? (lr sul. 43)

Des. 7 Okusoma Baibuli: Yoswa 1-5

Na. 1: Yoswa 5:1-15

Na. 2: Mikwano Gyaffe Basaanidde Okuba nga Baagala Katonda (lr sul. 44)

Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki? Engeri gye Tulagamu nti Tubwagala (lr sul. 45)

Des. 14 Okusoma Baibuli: Yoswa 6-8

Na. 1: Yoswa 8:1-17

Na. 2: Amazzi Gaasaanyaawo Ensi​—Kinaabaawo Nate? (lr sul. 46)

Na. 3: Lwaki Okubuulirira Okuli mu Omubuulizi 7:21, 22 Kwa Muganyulo?

Des. 21 Okusoma Baibuli: Yoswa 9-11

Na. 1: Yoswa 9:1-15

Na. 2: Engeri Gye Tuyinza Okumanyaamu nti Kalumagedoni Ali Kumpi (lr sul. 47)

Na. 3: Osobola Okubeera mu Nsi ya Katonda Empya ey’Emirembe (lr sul. 48)

Des. 28 Okusoma Baibuli: Yoswa 12-15

Okwejjukanya

[Obugambo obuli wansi]

a Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza..

b Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza..

c Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza..

d Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza..

e Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza..

f Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza..

Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza..

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza