LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/08 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 8/08 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Jul. 1

“Olowooza kisoboka abantu obuntu okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Ebikolwa 17:27.] Ekitundu kino kiraga ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.

Awake! Jul.

“Eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero biraga nti abantu beeyongedde okwettanira eby’obusamize. Ggwe olowooza okwenyigira mu by’obusamize tekiriimu kabi konna? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Ekyamateeka 18:10-12.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku kabi akali mu by’obusamize.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.

The Watchtower Agu. 1

“Eky’okuba nti obutonde bweyongedde okwonoonebwa kireetedde bangi okulowooza nti ensi eyolekedde akatyabaga. Gwe olowooza otya? ­[Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 37:11.] Magazini eno ewa ensonga ezeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa ezandituleetedde okuba n’essuubi mu biseera eby’omu maaso.”

Awake! Agu.

“Bangi bakakafu nti eky’okuba nti ensi egenda yeeyongera okubuguumirira kitadde obulamu ku nsi mu katyabaga. Gwe olowooza ekizibu kino kinaagonjoolwa kitya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Isaaya 11:9.] Magazini eno ewa ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti ensi eno ejja kweyongera okubaamu abantu.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza