Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Agusito: Emu ku brocuwa zino wammanga ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Beera Bulindaala!, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne Will There Ever Be a World Without War?, era ne brocuwa endala zonna eziri mu nnimi ezoogerwa mu kitundu kyammwe. Ssebutemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Fuba okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ku mulundi gw’oba osoose okumukyalira. Bwe kiba nti akatabo ako abantu bakalina, bannyonnyole engeri gye kayinza okubaganyulamu ng’obalaga mu bufunze engeri gye tukakozesaamu okuyigiriza abantu Baibuli. Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, muwe tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? era okubaganye naye ebirowoozo ku tulakiti eyo ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okuyiga naye Baibuli. Noovemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okufuna abayizi ba Baibuli. Era tuyinza n’okugaba akatabo Okumanya.
◼ Ebibiina lwe binaddako okulagiriza ebitabo, bisaanidde okusaba akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2009, 2009 Calendar of Jehovah’s Witnesses, ne 2009 Yearbook of Jehovah’s Witnesses. Olukalala oluliko ennimi ebintu bino mwe biri lujja kuweerezebwa eri ebibiina.
◼ Abakadde bajjukizibwa okugoberera obulagirizi obuli mu Watchtower eya Apuli 15, 1991, olupapula 21-3 obukwata ku abo abaagobebwa oba abeeyawula ku kibiina abandyagadde okukomezebwawo.
◼ Okusobola okuyamba ab’oluganda bamuzibe oba abantu abalala abaagala amazima abatasobola kulaba naye nga balina kompyuta ezisobola okwatula ebigambo ebiri mu mpandiika ya bamuzibe, wakoleddwawo enteekateeka okuweereza abantu ng’abo Watchtower eri mu mpandiika ya bamuzibe ku kompyuta. Bajja kuweerezebwa Watchtower zombi; eya bonna n’ey’okusoma mu kibiina eziri mu grade 2, oba Watchtower efunziddwamu ey’okusoma mu kibiina eri mu mpandiika ya bamuzibe mu lulimi Olungereza oba eyo etafunziddwamu eri mu Lufalansa. Abo abaagala okufuna Watchtower zino eziri mu mpandiika ya bamuzibe, basaanidde okusaba omuwandiisi w’ekibiina aweereze ebbaluwa ku ofiisi y’ettabi. Ebbaluwa eyo esaanidde okubaako erinnya ly’oyo azisaba awamu n’endagiriro ye, erinnya oba ekikka kya kompyuta gy’akozesa, endagiriro ye eya Internet, era asaanidde okulaga obanga asoma Lungereza oba Lufalansa. Bw’aba nga bino tasobola kubifuna butereevu ku kompyuta ye, ebbaluwa eyo esaanidde okubaako endagiriro ya Internet ey’oyo asobola okufuna ebintu bino era n’abimuweereza.