LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/08 lup. 3
  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 8/08 lup. 3

Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Agusito 25, 2008. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Jjulaayi 7 okutuuka mu wiiki etandika nga Agusito 25, 2008.

ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU

1. Bwe tuba tubuulira abalala amazima ga Baibuli, tuyinza tutya okulaga nti tetuli bakakanyavu? (Baf. 4:5) [be lup. 251 kat. 3]

2. Ekyokulabirako kya Pawulo ng’ayogera n’Abayonaani mu Aleyopaago kiyinza kutuyamba kitya bwe tuba tubuulira abo abatakkiririza mu Baibuli? (Bik. 17:22, 23) [be lup. 252 kat. 1-2]

3. Ne bwe tuba nga tukimanyi bulungi nti omuntu gwe twogera naye alina endowooza enkyamu, tuyinza tutya okwogera naye mu ngeri eraga nti tetuli bakakanyavu? [be-LU lup. 252 kat. 5-lup. 253 kat. 1]

4. kiki kye tusaanidde okujjukira nga tufuba okuwa abantu obukakafu obumatiza? [be lup. 255 kat. 3, akasanduuko]

5. Tuyinza tutya okukozesa amagezi okusobola okutuuka ku mutima gw’oyo atuwuliriza? (Engero. 20:5) [be lup. 258 kat. 1-5]

EMBOOZI 1

6. Biki bannyinaffe bye basaanidde okujjukira nga bategeka embeera mwe banaaweera emboozi? [be lup. 44 kat. 5-6]

7. Kiki ab’oluganda kye basaanidde okufuba okutuukiriza nga banokolayo ebimu ku bikulu ebiri mu kusoma Baibuli okwa wiiki? (Nek. 8:8) [be lup. 47 kat. 2-3]

8. Kiki ow’oluganda ky’asaanidde okukola singa aweebwa ekitundu ekirimu okulaga ekyokulabirako oba okubuuza ebibuuzo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza? [be lup. 49 kat. 5]

9. Ekitabo ky’Ebikolwa By’Abatume kiraga kitya engeri obujulirwa gye bulina okuweebwamu? (Bik. 20:20, 21; 28:23) [bsi08-LU lup. 16 kat. 35]

10. Kiki ow’oluganda awa emboozi ya bonna ky’ayinza okukola okusobola okukakasa nti emboozi ye yeesigamiziddwa ku Baibuli? (Bik. 17:2, 3) [be p. 52 kat. 6–lup. 53 kat. 2]

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Lwaki omukuumi w’ekkomera ery’e Firipi yali agenda “okwetta”? (Bik. 16:25-27) [w90 5/15 lup. 25, akasanduuko]

12. Gayo ne Alisutaluuko baakola ki bwe baayigganyizibwa? (Bik. 19:29; 20:4, 5) [w08-LU 2/15 lup. 10 kat. 16-17]

13. Sawulo okuba nti yali ‘asamba emiwunda’ kyali kitegeeza ki? (Bik. 26:14) [w03 10/1 lup. 32]

14. ‘Ekibi kyafuna kitya we kiyima’ okuyita mu mateeka? (Bar. 7:8, 11) [w08-LU 6/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa Eyawandiikirwa Abaruumi”]

15. Tuyinza tutya ‘okukumira amanda g’omuliro’ ku mutwe gw’omulabe? (Bar. 12:20) [w08-LU 6/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa Eyawandiikirwa Abaruumi”]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza