LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/08 lup. 2
  • Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Agusito 11
  • Wiiki Etandika Agusito 18
  • Wiiki Etandika Agusito 25
  • Wiiki Etandika Ssebutemba 1
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 8/08 lup. 2

Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza

Wiiki Etandika Agusito 11

Oluyimba 30

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebiri mu magazini ezaakafulumizibwa ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Saba abawuliriza boogere ku nsonga zennyini eziri mu bitundu ebyo bye bateekateeka okukozesa nga bagaba magazini zino. Kibuuzo ki ekiyinza okubuuzibwa okusobola okutandika okunyumya n’omuntu? Kyawandiikibwa ki ekiyinza okusomebwa okuva mu kitundu ekyo? Laga ekyokulabirako ku ngeri ennyanjula eziweereddwa gye zisobola okukozesebwamu.

Ddak. 15: Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kukola Katonda By’Ayagala. Kwogera okwesigamiziddwa ku katabo “Come Be My Follower,” empapula 93-94, akatundu 12-13.

Ddak. 20: “Magazini eya Bonna Ogikozesa mu Bujjuvu?”a Buuza ebibuuzo omubuulizi eyasobola okukozesa ekimu ku bitundu ebiri mu Watchtower eya bonna ng’ali mu buweereza bw’ennimiro. Ayinza okulagira ddala nga bwe kyali. Era ng’osinziira ku katundu 2, laga engeri gye tuyinza okuyigiriza omuntu Baibuli nga tukozesa ekitundu “Bye Tuyigira ku Yesu,” ekiri mu Watchtower eya Agusito 1 oba mu Watchtower endala yonna eyaakafulumizibwa.

Oluyimba 9

Wiiki Etandika Agusito 18

Oluyimba 56

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu.” Bategeeze ennaku z’omwezi olukuŋŋaana olwo we lunaabeererawo bw’oba ng’ozimanyi. Jjukiza abawuliriza okujja ne Watchtower eya Agusito 1 ne Awake! eya Agusito mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo wiiki ejja era n’okuba abeetegefu okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gye ziyinza okugabibwamu mu kitundu kyammwe.

Ddak. 20: Ennyambala Yaffe n’Engeri gye Twekolako Biweesa Yakuwa Ekitiibwa. Kwogera kw’omukadde. Olw’okuba Yakuwa Katonda mutukuvu, abantu be basaanidde okuba abayonjo mu mubiri. (Kuv. 30:17-21; 40:30-32) Okuyitira mu nnyambala yaffe ennungi n’okwekolako okusaanira, naddala nga tuli mu buweereza, tusanyusa Yakuwa era ne tumuweesa ekitiibwa. (1 Peet. 2:12) Ku luuyi olulala, bwe tutakola ekyo, kiyinza ‘okuvumisa ekigambo kya Katonda.’ (Tito 2:5) Waayo ekyokulabirako okuva mu kitundu kyammwe oba mu bitabo byaffe ekiraga engeri endabika ennungi ey’omubuulizi gye yamuyamba okuwa obujulirwa.

Ddak. 15: Abavubuka Abawa Obujulirwa obw’Amaanyi. Kwogera okuzzaamu amaanyi okukwata ku bazadde n’abaana baabwe abanaatera okuddayo ku ssomero. Jjukiza abaana okukozesa buli kakisa ke bafuna okuwa obujulirwa. Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baasobola okuwa obujulirwa nga bali ku ssomero.

Oluyimba 68

Wiiki Etandika Agusito 25

Oluyimba 7

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu “Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu,” era obategeeze n’ennaku z’omwezi olukuŋŋaana olwo we lunaabeererawo bw’oba ng’ozimanyi.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 15: Weeteeketeeke Okugaba Watchtower eya Agusito 1 ne Awake! eya Agusito. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Kibuuzo ki na kyawandiikibwa ki ebiyinza okukozesebwa okwanjula ekitundu ekyo. Laga engeri ennyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka gye ziyinza okukozesebwamu. Saba omu ku bakadde alage ekyokulabirako ekikwata ku nnyanjula gye yategese ng’asinziira ku kitundu ekiri mu magazini ekiyinza okutuukana n’ekitundu kyammwe.

Oluyimba 1

Wiiki Etandika Ssebutemba 1

Oluyimba 41

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Agusito.

Ddak. 20: Tebali Naffe Naye Tebeerabiddwa. Kwogera okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Apuli 15, 2008, olupapula 25-28. Tegeeza ekibiina ab’oluganda okuva mu kibiina kyammwe abali mu bifo omulabirirwa bannamukadde. Bwe watabaawo wa luganda ali mu kifo ng’ekyo, kozesa omusingi oguli mu kitundu ekyo okukubiriza ab’oluganda okuyamba abo bonna abalwadde oba abalina obunafu mu mubiri basobole okwenyigira mu bintu ebitali bimu ebikolebwa mu kibiina.

Ddak. 15: Mu Mwezi gwa Ssebutemba, Tandika Okuyigiriza Abantu Baibuli ku Mulundi Gw’Oba Osoose Okubakyalira. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Mu Ssebutemba tujja kugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku bumu ku butundu obukalimu ku mulundi gwe tuba tusoose okubakyalira. Mwejjukanye ebirowoozo ebiri mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2006 era olageyo ekyokulabirako kimu oba bibiri ebiraga engeri y’okutandika okusoma n’omuntu Baibuli ku mulundi gw’oba osoose okumukyalira.

Oluyimba 34

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza