Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza
Wiiki Etandika Apuli 14
Oluyimba 82
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 6 oba ebirala ebituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Maaki 1 ne Awake! eya Maaki.
Ddak. 15: “‘Mwebazenga.’”a Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiragiddwa.
Ddak. 20: “Budaabuda Abo Abakungubaga.”b Saba abawuliriza boogere ku birungi ebyavaamu bwe baabudaabuda omuntu eyali afiiriddwa omwagalwa we.
Oluyimba 18
Wiiki Etandika Apuli 21
Oluyimba 75
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Jjukiza abawuliriza okujja ne Watchtower eya Apuli 1 ne Awake! eya Apuli mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo wiiki ejja era n’okweteekateeka okukubaganya ebirowoozo ku nnyanjula ezituukana n’ekitundu kyammwe.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: Omulabirizi akubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda ajja kwogera ku nsonga enkulu eziri wansi w’omutwe “Eddoboozi Erisaanira” oguli ku ssuula 8 mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Kubiriza bonna okwogeranga mu ddoboozi eriwulikika obulungi nga baliko bye baddamu mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo, kisobozese bonna okuganyulwa.
Oluyimba 80
Wiiki Etandika Apuli 28
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Apuli. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu Watchtower eya Apuli 1 ne Awake! eya Apuli, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe, era bawe n’ensonga lwaki bagamba bwe batyo. Saba abawuliriza boogere ku nsonga zennyini eziri mu bitundu ebyo bye bateekateeka okukozesa nga bagaba magazini ezo. Kibuuzo ki ekiyinza okubuuzibwa okusobola okutandika okunyumya n’omuntu? Kyawandiikibwa ki ekiyinza okusomebwa okuva mu kitundu ekyo? Ekyawandiikibwa ekyo oyinza kukikwataganya otya n’ebyo by’oyogerako? Ng’okozesa ennyanjula abawuliriza ze bawadde oba ezo eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza.
Ddak. 20: “‘Tambulira mu Bigere Bye.’”c Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 74
Wiiki Etandika Maayi 5
Oluyimba 97
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: Yakuwa Talikwabulira n’Akatono. Okwogera okuzzaamu amaanyi nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Okitobba 15, olupapula 8-11.
Ddak. 20: “Beera Omubuulizi Akulaakulana.”d Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, yogera ne ku ebyo ebiri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu, lupapula 6-8, wansi w’omutwe omutono “Engeri y’Okuganyulwamu mu Bujjuvu.”
Oluyimba 19
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.