Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Jjanwali 14
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Ddesemba 15 ne Awake! eya Ddesemba.
Ddak. 15: “Kozesa Bulungi Ebiseera Byo ng’Oli mu Buweereza bw’Ennimiro.”a Buuza ebibuuzo ow’oluganda akubiriza obulungi olukuŋŋaana lw’okugenda mu buweereza bw’ennimiro. Kiki ky’akola ng’ateekateeka okukulembera abalala mu buweereza bw’ennimiro era n’okubayamba okukozesa obulungi ebiseera byabwe?
Ddak. 20: “‘Ebigambo Byammwe Binogenga Omunnyo.’”b Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, soma Yokaana 4:7-15, 39.
Oluyimba 38
Wiiki Etandika Jjanwali 21
Oluyimba 96
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Bategeeze ebitabo eby’okugaba mu Febwali, era olageyo n’ekyokulabirako kimu. Kubiriza bonna okulaba vidiyo eyitibwa Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights nga mwetegekera okugikubaganyaako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo mu wiiki etandika Febwali 4. Bwe muba temugirina, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004 n’eya Okitobba 15, 2000 oba ekitundu ekirina omutwe “Oli Mwetegefu Okwolekagana n’Embeera Esoomooza Okukkiriza kwo Ekwata ku by’Obujjanjabi?” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1990. Ababuulizi bayinza okusoma ebyo ebiri mu bitundu ebyo ng’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo mu wiiki etandika Febwali 4 terunnatuuka.
Ddak. 10: Okozesa Akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku nnyanjula ey’akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2008. Oba oyinza okukozesa ennyanjula ey’akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2007 bwe kiba nti aka 2008 tekannatuuka mu kibiina kyammwe. Mukubaganye ebirowoozo ku bukulu bw’okuffisaawo ebiseera ebitonotono buli lunaku okusobola okwekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku n’ebyo ebikyogerako. Saba abawuliriza boogere ku nteekateeka zaabwe ez’okusoma ekyawandiikibwa eky’olunaku era n’engeri gye baganyuddwamu. Omubuulizi omu oba babiri bayinza okutegeka nga bukyali ebyo bye banaayogera. Yogera mu bufunze ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2008.
Ddak. 25: “‘Buulira mu Bujjuvu Amawulire Amalungi.’”c (Kat. 1-10) Kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abaaweereza nga bapayoniya abawagizi omwaka oguwedde wadde nga baalina eby’okukola bingi oba obunafu mu mubiri. Kino baakikola batya? Ssanyu ki lye baafuna? Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 7, yogera ku nteekateeka ezikoleddwa ez’enkuŋŋaana ez’okugenda mu nnimiro mu Maaki, Apuli, ne Maayi.
Oluyimba 79
Wiiki Etandika Jjanwali 28
Oluyimba 30
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjanwali. Soma alipoota y’ebyembalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Jjanwali 1 ne Awake! eya Jjanwali. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza boogere ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe, era bawe n’ensonga lwaki bagamba bwe batyo. Saba abawuliriza boogere ku nsonga zennyini eziri mu bitundu ebyo bye bateekateeka okukozesa nga bagaba magazini zino. Kibuuzo ki ekiyinza okubuuzibwa okusobola okutandika emboozi n’omuntu? Kyawandiikibwa ki ekiri mu kitundu ekyo ekiyinza okusomebwa? Ekyawandiikibwa ekyo kiyinza kitya okukwataganyizibwa n’ekitundu ekyo? Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 8, laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini zino.
Ddak. 20: “‘Buulira mu Bujjuvu Amawulire Amalungi.’”d (Kat. 11-17) Obupapula obw’enjawulo obuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo bwe bubaawo, buli omu aweebwe akapapula ako nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 14, era obategeeze n’enteekateeka ezikoleddwa okubugaba mu kitundu kyonna kye mubuuliramu.
Ddak. 15: “Yamba Abayizi Bo Okufuuka Ababuulizi b’Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka.”e Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 86
Wiiki Etandika Febwali 4
Oluyimba 69
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Mukubaganye ebirowoozo ku Kasanduuko k’Ebibuuzo.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 25: “Tonnagijjuzaamu?” Kya kukubirizibwa omukadde. Tandikirawo okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku vidiyo eyitibwa Patient Needs and Rights, ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa mu kitundu ekyo. Ng’ofundikira, soma akatundu akasembayo era okubirize bonna okwekenneenya ebitundu ebiragiddwa okuva mu Watchtower ne mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Vidiyo gye zitali, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu “Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi” ekisangibwa mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004 n’eya Okitobba 15, 2000 oba ekyo ekirina omutwe “Oli Mwetegefu Okwolekagana n’Embeera Esoomooza Okukkiriza kwo Ekwata ku by’Obujjanjabi?” ekisangibwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1990. Bategeeze engeri buli omu atannaba kujjuzaamu kaadi eyitibwa DPA gy’ayinza okukozesaamu akapapula ak’omunda akasangibwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006 okusalawo ebikwata ku butundutundu bw’omusaayi n’enzijanjaba ze yandyagadde. Abo abaamala okujjuzaamu kaadi eyo bayinza okuddamu okwekenneenya ebyo bye baasalawo, era bwe kiba kyetaagisa, bayinza okujjuzaamu kaadi endala.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.