Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Ddesemba 10
Oluyimba 21
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 8 oba endala ezituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugaba Watchtower eya Noovemba 15 ne Awake! eya Noovemba.
Ddak. 20: Essomero ly’Omulimu gwa Katonda Erya 2008. Kwogera kw’omulabirizi akubiriza essomero. Yogera ku nsonga ezeetaaga okussaako nnyo essira mu kibiina kyammwe okuva mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2007. Bategeeze obuvunaanyizibwa bw’omuyambi w’akubiriza essomero. Kubiriza bonna okufuba okulaba nti bawa emboozi eziba zibaweereddwa, okubaako bye baddamu mu kitundu eky’okunokolayo ebikulu ebiba mu kusoma Baibuli okwa wiiki, era n’okussa mu nkola amagezi agaweebwa buli wiiki okuva mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
Ddak. 15: “Budaabuda Abalina Emitima Egimenyese.”a Waayo ekyokulabirako kimu oba bibiri okuva mu kitundu kyammwe.
Oluyimba 14
Wiiki Etandika Ddesemba 17
Oluyimba 52
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kubiriza bonna okulaba vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News bw’eba nga weeri, nga mwetegekera okugikubaganyaako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo mu wiiki etandika Ddesemba 31. Bwe muba temugirina, muyinza okukubaganya ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Engeri y’Okuyambamu Omwana Wo Okwagala Katonda” ekiri mu Watchtower eya Ssebutemba 15, 2007, olupapula 8-10. Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: “Tuteekwa Okweyongera Okuba Abanyiikivu mu Buweereza.”b Buuza ebibuuzo omubuulizi omunyiikivu mu buweereza. Mubuuze ebibuuzo bino: Biki by’okoze okusobola okusigala ng’oli munyiikivu mu buweereza? Kiki ekikusobozesezza okusigala ng’oli munyiikivu mu buweereza?
Ddak. 20: “Gaba Magazini Eziwa Obujulirwa ku Mazima.”c Saba abawuliriza boogere ku ebyo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006, olupapula 8. Kubiriza abawuliriza okusoma Watchtower eya Ddesemba 1 ne Awake! eya Ddesemba. Basabe bajje ne magazini zino mu lukuŋŋaana olunaabaawo mu wiiki etandika Jjanwali 7.
Oluyimba 59
Wiiki Etandika Ddesemba 24
Oluyimba 94
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Bategeeze ebitabo eby’okugaba mu Jjanwali, era olage n’ekyokulabirako kimu ekituukirawo.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Weeteerewo Ekiruubirirwa eky’Okufuna Omuyizi wa Baibuli.”d Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abaafuna abayizi ba Baibuli gye buvuddeko awo. Baafuna batya abo be bayigiriza Baibuli? Abayizi baabwe bakulaakulana batya?
Wiiki Etandika Ddesemba 31
Oluyimba 41
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe eza Ddesemba.
Ddak. 15: Okwemalira ku Katonda Kutukubiriza Okubaako kye Tukola. Okwogera okuzzaamu amaanyi nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Maaki 1, 1990, olupapula 22-3.
Ddak. 25: “Kaweefube w’Okubuulira Atabangawo mu Nsi!”e Saba abawuliriza boogere ku birungi ebyavaamu bwe baalaga ab’eŋŋanda zaabwe, mikwano gyabwe, abo be baddiŋŋana, n’abayizi baabwe aba Baibuli vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News. Bwe muba nga temugirina saba ab’oluganda boogere ku birungi ebyava mu kubuulira ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe, oba ebyavaamu nga bazzeeyo eri abo abaalaga okusiima, oba eri abayizi baabwe aba Baibuli abakulaakulana. Oba mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Engeri y’Okuyambamu Omwana Wo Okwagala Katonda” ekiri mu Watchtower eya Ssebutemba 15, 2007, olupapula 8-10.
Oluyimba 64
Wiiki Etandika Jjanwali 7
Oluyimba 63
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: Weeteeketeeke Okugaba Magazini Ezaakafulumizibwa. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Ddesemba 1 ne Awake! eya Ddesemba. Oluvannyuma lw’okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu buli emu ku magazini zino, saba abawuliriza boogere ekitundu ekiyinza okusikiriza abantu abali mu kitundu kyammwe era bawe n’ensonga ebaviirako okugamba bwe batyo. Saba abawuliriza boogere engeri gye bateekateeka okugaba magazini zino nga bakozesa ebitundu ebyabanyumidde. Kibuuzo ki kye tuyinza okukozesa okusobola okutandika emboozi n’omuntu? Kyawandiikibwa ki ekiyinza okusomebwa ekiri mu kitundu ekyo kye tuba twogerako? Tuyinza kukikwataganya tutya n’ekitundu kye tuba twogerako? Ng’okozesa ennyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka oba endala yonna abawuliriza gye boogeddeko, laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Ddak. 25: “Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2008.”f Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Bonna beebaze olw’okwetegekeranga olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga bukyali.
Oluyimba 84
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
f By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.