Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Okitobba 8
Oluyimba 26
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Ssebutemba 15 ne Awake! eya Ssebutemba. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zisaanidde okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako.
Ddak. 20: Beera Kumpi n’Ekibiina kya Yakuwa. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized to Do Jehovah’s Will essuula 17.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Wiiki Etandika Okitobba 15
Oluyimba 31
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
Ddak. 20: Amazima Gabala Ebibala mu Abo b’Oyigiriza? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Febwali 1, 2005, olupapula 28-30. Yogera ne ku ngeri ebibuuzo ebiri mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza gye byategekebwamu okutuyamba okutegeera endowooza y’omuyizi. Waayo ebyokulabirako ebitonotono, gamba ng’essuula 1, akatundu 19; essuula 2, akatundu 4, essuula 3, akatundu 24; n’essuula 4, akatundu 18. Kubiriza ababuulizi okukozesa obulungi ebintu eby’enjawulo ebiri mu katabo ako.
Ddak. 15: Ojjukira? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Agusito 15, 2007, olupapula 19.
Oluyimba 64.
Wiiki Etandika Okitobba 22
Oluyimba 78
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Okitobba 1 ne Awake! eya Okitobba.
Ddak. 15: “Awake! ey’Enjawulo ey’Okugaba mu Noovemba!”a Mu bufunze, yogera ku ebyo ebiri mu Awake! eya Noovemba. N’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, laga engeri y’okugabamu Awake! eya Noovemba ng’okozesa ennyanjula eno: “Mu biseera eby’edda, abantu baateranga okukozesa Baibuli okusobola okufuna obulagirizi. Naye leero bangi bagibuusabuusa. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 2 Timoseewo 3:16.] Awake! eno ey’enjawulo ewa obukakafu obwenkukunala obulaga nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda.” Nga tonnafundikira kyakulabirako kino, ssaawo omusingi kw’onoosinziira okuddayo eri oyo gw’owadde magazini.
Ddak. 20: Mweyongere Okutambula ng’Abaana ab’Ekitangaala. Kwogera n’okubuuza ebibuuzo. Twaleka ekizikiza ky’ensi eno era twakkiriza okukulemberwa ekitangaala kya Yakuwa. (Bef. 5:8, 9) Kino kireetedde obulamu bwaffe okuba obulungi era nga bulina ekigendererwa. (1 Tim. 4:8) Ekitangaala kino era kituwa essuubi. (Bar. 15:4) Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri oba basatu abavvuunuka ekizibu eky’amaanyi basobole okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. Baayolekagana na kizibu ki nga bajja mu mazima? Baasobola batya okukivvuunuka? Embeera y’obulamu bwabwe erongoose etya? Kiki ekibayambye okunywerera mu mazima? Fundikira ng’okubiriza bonna okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo era n’okusiima amazima Yakuwa g’ababikkulidde.—2 Peet. 1:5-8.
Oluyimba 30.
Wiiki Etandika Okitobba 29
Oluyimba 23
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo alipoota zaabwe ez’obuweereza eza Okitobba. Bategeeze ebitabo eby’okugabibwa mu Noovemba era olageyo ekyokulabirako kimu.
Ddak. 15: Weeteerewo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo Osobole Okugulumiza Omutonzi Wo. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Jjulaayi 15, 2004, olupapula 21-3. Saba abawuliriza boogere ku biruubirirwa eby’omwoyo bye beeteereddewo n’ekyo kye bakola okusobola okubituukako. Eky’okuddamu kimu oba bibiri biyinza okutegekebwa nga bukyali.
Ddak. 20: “Abaavu Bawe Essuubi.”b Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, yogera ne ku ebyo ebiri mu Awake! eya Ssebutemba 8, 2003, olupapula 26-7.
Oluyimba 33.
Wiiki Etandika Noovemba 5
Oluyimba 67
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: Engeri y’Okukuumamu Abaana bo ng’Okozesa Amagezi Agava eri Katonda. Kwogera okwesigamiziddwa ku Watchtower eya Jjanwali 1, 2005, olupapula 23-7.
Ddak. 20: “Okuzziŋŋanamu Amaanyi.”c Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baazzibwamu amaanyi omulabirizi atambula bwe yakyalira ekibiina kyammwe. Eky’okuddamu kimu oba bibiri biyinza okutegekebwa nga bukyali.
Oluyimba 48.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.