Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Agusito 27, 2007. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Jjulaayi 2 okutuuka mu wiiki etandika nga Agusito 27, 2007.
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu balala nga tuli mu buweereza ne mu kibiina? [be lup. 192 kat. 2-4]
2. Biki bye twetaaga okukola okusobola okulaga nti bye twogera tubyekakasa? [be lup. 196 kat. 1-3]
3. Ebimu ku birowoozo ebijja okutuyamba okuba abeegendereza nga tubuulira abalala bye biruwa? [be-LU lup. 198 kat. 1–lup. 199 kat. 1]
4. Okuba omwegendereza kizingiramu kitya okumanya ekiseera ekituufu eky’okwogereramu nga tubuulira abalala? (Nge. 25:11) [be-LU lup. 199 kat. 2-4]
5. Tuyinza tutya okwogera mu ngeri ezzaamu amaanyi? [be-LU lup. 203 kat. 3–lup. 204 kat. 2]
EMBOOZI 1
6. Kiki ekiraga nti Ezeekyeri ye yawandiika ekitabo ekiyitibwa erinnya lye, era bukakafu ki obulaga nti ekitabo ekyo kituufu? [bsi07-LU lup. 6 kat. 3]
7. Ngeri ki omuntu gy’alina okuba nayo okusobola okugumira obutali bwenkanya? [w05 6/1 lup. 29 kat. 4]
8. Kiki kye tuyigira ku ebyo Yesu bye yaddamu Abasaddukaayo abaamubuuza ebikwata ku kuzuukira? (Luk. 20:37, 38) [be lup. 66 kat. 4]
9. Singa omuyizi wa Baibuli oba mukkiriza munno akubuuza ky’asaanidde okukola mu mbeera emu, wandimuzzeemu otya? [be lup. 69 kat. 4-5]
10. Kiki ekizingirwa mu ‘kufuuka abaggya mu mwoyo ogw’ebirowoozo byammwe’? (Bef. 4:23) [be lup. 74 kat. 4]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Mu Ezeekyeri 9:2-4, omusajja ayambadde bafuta akiikirira ani, era “akabonero ku byenyi” kategeeza ki? [w88 9/15 lup. 14 kat. 18]
12. Mu ngeri ki abakulembeze b’eddiini za Kristendomu gye balinga ‘bannabbi abasirusiru [abaali] bagoberera omwoyo gwabwe bo,’ aboogerwako mu Ezeekyeri 13:3? [w99 10/1 lup. 24]
13. Abaisiraeri bwe baagera “olugero” olusangibwa mu Ezeekyeri 18:2, kiki kye baali bagezaako okukola, era ebigambo bya Ezeekyeri bituyigiriza ki ku buvunaanyizibwa buli muntu bw’alina? [w88 9/15 lup. 18 kat. 10]
14. Mu ngeri ki Ezeekyeri gye yafuukamu “kasiru” mu kiseera Yerusaalemi lwe kyazingizibwa era ne kizikirizibwa? (Ez. 24:27; 33:22) [w03-E 12/1 lup. 29]
15. “Googi ow’omu nsi ya Magoogi” y’ani, era ddi lw’ajja okulumba abantu ba Yakuwa? (Ez. 38:2, 16) [w-LU 97 3/1 lup. 24 kat. 1–3]