Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Weetegereze: Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kajja kubaamu enteekateeka y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa buli wiiki mu myezi enkuŋŋaana ennene we zinaabeererawo. Ebibiina biyinza okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe, “Goberera Kristo!” Bwe kiba kisoboka, mukozese eddakiika 15 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olusembayo nga temunnagenda mu lwa disitulikiti, okwejjukanya ebiri mu lupapula olw’omunda olw’omwezi guno ebituukirawo mu kitundu kyammwe. Nga wayiseewo omwezi gumu oba ebiri oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene, mukozese eddakiika 15 oba 20 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza (oboolyawo nga mukozesa ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina) okukubaganya ebirowoozo ku bikulu ebyali mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti ababuulizi bye basanze nga bya muganyulo mu buweereza bwabwe. Okukubaganya ebirowoozo kuno kusaanidde okukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Saba abawuliriza boogere ku ngeri ebyo bye baayiga gye babiteeka mu nkola mu buweereza bwabwe oba engeri gye bateekateeka okubikozesa.
Wiiki Etandika Jjuuni 11
Oluyimba 14
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri gye tuyinza okugabamu Watchtower eya Maayi 15 ne Awake! eya Maayi.
Ddak. 15: Tulina Byonna Ebyetaagisa Okuyigiriza Abalala Ekigambo kya Katonda. Okwogera okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Febwali 15, 2002, lupapula 18-22. Abakristaayo abamu batya okutandika okuyigiriza Baibuli abo abasiima amazima kubanga balowooza nti tebalina bisaanyizo. Wadde kiri bwe kityo, Yakuwa atutendeka okuba abaweereza ng’ayitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe omutukuvu, n’ekibiina kye. Ekiruubirirwa kyaffe si kwe kugaba obugabi ebitabo. Tusaanidde okufuba okuyigiriza abantu. (Mat. 28:19, 20) Kubiriza ababuulizi okuba n’ekiruubirirwa eky’okuyigiriza abantu Baibuli.
Ddak. 20: Kola Byonna olw’Okugulumiza Katonda. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku ssuula 13 ey’akatabo Organized to Do Jehovah’s Will
Oluyimba 61 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 18
Oluyimba 97
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: Ojjukira? Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Apuli 15, 2007, olupapula 19.
Ddak. 20: “Tuli Basanyufu Okuweereza Yakuwa n’Obunyiikivu!”* Ebiseera bwe bibaawo saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 37 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 25
Oluyimba 44
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa enyanjula eziri ku lupapula 8 oba endala ezituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Jjuuni 1 ne Awake! eya Jjuuni.
Ddak. 20: “Kaweefube ow’Ensi Yonna ow’Okulangirira Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa ‘Goberera Kristo!’”* Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba abawuliriza boogere ku byokulabirako ebirungi bye baafuna nga bagaba obupapula obuyita abantu okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka oguwedde oba yogera ku ebyo ebiri mu katabo 2007 Yearbook, okuva ku lupapula 7 okutuuka ku mutwe omutono oguli ku lupapula 10.
Ddak. 15: “Osobola Okuyingira ‘Omulyango Omugazi Ogutuusa ku Mirimu Emingi’?”* Mu bufunze buuza ebibuuzo payoniya owa bulijjo omu oba babiri. Nkyukakyuka ki ze baakola okusobola okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo? Mikisa ki gye bafunye?
Oluyimba 58 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjulaayi 2
Oluyimba 45
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjuuni. Bategeeze ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi.
Ddak. 10: “Weeyongere ‘Okubala Ebibala Bingi’”* Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, yogera ku ebyo ebiri mu kasanduuko akagamba nti “Engeri ‘y’Okubalamu Ebibala n’Okugumiikiriza,’” akali mu Omunaala gw’Omukuumi aka February 1, 2003, lupapula 29.
Ddak. 30: “Goberera Kristo nga Weeyisa mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa.”a Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Bategeeze olukuŋŋaana lwa disitulikiti ekibiina kyammwe kye lunaagendamu. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kasanduuko “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti.”
Oluyimba 88 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.