LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/07 lup. 7
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 4/07 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abo abaajja ku kijjukizo oba abo abaaliwo mu nkuŋŋaana endala ez’Ekikristaayo naye nga tebatera kubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, gezaako okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Jjuuni: Tujja kugaba akatabo Is There a Creator Who Cares About You? oba Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka. Era tuyinza n’okugaba akatabo Okumanya. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino wammanga ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Beera Bulindaala!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, ne Will There Ever Be a World Without War?

◼ Abawandiisi b’ebibiina basaanidde okubeera ne foomu ezimala okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo (S-205), n’ezo okusabirwa okukola nga payoniya omuwagizi (S-205b). Zino ziyinza okusabibwa ku foomu okusabirwa ebitabo (S-14). Beera ne foomu ezinaamala omwaka gwonna. Nga tonaaweereza ku ttabi foomu okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo, kakasa nti zijjuziddwamu bulungi.

◼ Kyetaagisa ofiisi y’ettabi okubeera n’ebiwandiiko ebituufu eby’endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abawandiisi era n’ez’abalabirizi abakubiriza obukiiko bw’abakadde. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna mu ndagiriro, Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kasaanidde okujjuzaamu foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S-29), ne kagissaako emikono era n’eweerezebwa ku ofiisi y’ettabi amangu ddala. Kino kitwaliramu n’enkyukakyuka mu nnamba z’essimu mu kitundu ekyo.

◼ Buli lw’okola enteekateeka ez’okutambulako nga zizingiramu okubeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu lukuŋŋaana lw’ekitundu, oba olwa disitulikiti mu nsi endala, okusaba kwo okukwata ku kutegeezebwa ennaku z’omwezi, ebiseera, n’ekifo awanaabeera enkuŋŋaana kuteekwa okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu mu nsi eyo. Endagiriro z’amatabi ga ofiisi ziri ku lupapula olusembayo mu katabo Yearbook akaakafulumizibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza