LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/07 lup. 7
  • okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 4/07 lup. 7

okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Apuli 30, 2007. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Maaki 1 okutuuka mu wiiki etandika nga Apuli 30, 2007. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza okusobola okufuna eky’okuddamu.​—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 36-7.]

ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU

1. Tuyinza tutya okukola ekiwandiiko ky’emboozi ekyangu okugoberera? [be lup. 168 kat. 3]

2. Waayo engeri nnya ez’okusengekamu obulungi ensonga zo. [be lup. 170 kat. 3–lup. 172 kat. 4]

3. Nsonga ki ze tusaanidde okulowoozaako nga tulonda eby’okukozesa mu mboozi zaffe? [be lup. 173 kat. 1-2]

4. Miganyulo ki egimu egiri mu kuwa emboozi nga bye twogera tetusoma bisome? [be lup. 175 kat. 3-5]

5. Lwaki kikulu okwogera ng’anyumya, era tuyinza tutya okuyiga okwogera mu ngeri eyo? [be lup. 179 kat. 4, kasanduuko; lup. 180, kasanduuko]

EMBOOZI 1

6. Ow’oluganda yanditegese atya singa aweebwa ekitundu eky’okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Baibuli okwa wiiki? [be lup. 47 kat. 3-4]

7. Kiki ekikulu ennyo ekiri mu kinunulo kya Kristo ekisinga n’emiganyulo ffe gye tukifunamu? [w05-E 11/1 lup. 14 kat. 1]

8. Ebyawandiikibwa ebiweebwa ku kiwandiiko ky’emboozi ya bonna birina kukozesebwa bitya? [be lup. 53 kat. 1-2]

9. Ng’omuyigiriza, Yesu yalina kiruubirirwa ki, era tusobola tutya okumukoppa? [be lup. 57 kat. 1]

10. Lwaki kirungi okugeraageranya amazima n’enzikiriza endala nga tuyigiriza? [be lup. 57 kat. 3-4]

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Lwaki twandifubye okugoberera okubuulirira okuli mu Yeremiya 6:16 okukwata ku kutambulira mu ‘makubo ag’edda, oluguudo olulungi gye luli’?

12. Lwaki Yakuwa yalondawo okukozesa ssekanyolya okusobola okuwa Abayudaaya abataali beesigwa eky’okuyiga, era ekyo tukiyigirako ki? (Yer. 8:7)

13. Tuyinza tutya okussa mu nkola ebyo ebiri mu Yeremiya 15:17 bwe kituuka ku ngeri gye tutunuuliramu eby’amasanyu leero?

14. Mu ngeri ki abantu gye balinga ebbumba mu mikono gy’Omubumbi Asinga Obukulu, Yakuwa? (Yer. 18:5-11)

15. Engeri amawanga gye gasengekeddwamu mu Yeremiya 25:17-26 erina makulu ki mu kiseera kyaffe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza