LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 3/07 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 3/07 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Feb. 15

“Abamu balowooza nti abantu boonoonye nnyo ensi. Ggwe naawe bw’otyo bw’olowooza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kino ekizzaamu amaanyi. [Soma Okubikkulirwa 11:18.] Magazini eno ennyonnyola ekyo ekifuula ensi eno okuba ey’enjawulo. Ate era eraga Baibuli ky’eyogera ku ekyo ekinaatuuka ku nsi mu biseera eby’omu maaso.”

Awake! Feb.

“Olowooza eno ye nsonga lwaki waliwo okubonaabona kungi mu nsi? [Soma 1 Yokaana 5:19. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku ngeri gye tuyinza okutegeeramu ‘omubi’ era n’okwewala enkwe ze.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.

The Watchtower Mak. 1

“Abantu bangi balowooza nti amadiini gonna gasanyusa Katonda. Olowooza kikulu omuntu okufaayo ku ddiini ki gy’alondawo okubaamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’egamba. [Soma 1 Yokaana 4:1.] Magazini eno ennyonnyola engeri gye tuyinza okutegeeramu enjigiriza eziva eri Katonda. Ate era ennyonnyola engeri amadiini ag’enjawulo gye gaatandikamu.”

Awake! Mak.

“Ggwe olowooza, ebimu ku bizibu abavubuka bye boolekagana nabyo leero bye biruwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Olunyiriri luno lwogera ku kizibu kimu, kwe kugamba, okufuna emikwano emirungi. [Soma Engero 13:20.] Magazini eno eyogera ku kabi akali mu kufuna emikwano ng’okozesa Internet era n’engeri abavubuka gye basobola okukuumibwamu.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza