Programu Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Ddesemba 11
Oluyimba 84
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 8 oba endala ezituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugaba Watchtower eya Noovemba 15 ne Awake! eya Noovemba. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okukwatamu omuntu agamba nti “Saagala.”—Laba akatabo Reasoning, lup. 16.
Ddak. 15: Essomero ly’Omulimu gwa Katonda erya 2007. Kwogera n’okubuuza ebibuuzo nga kukubirizibwa omulabirizi w’essomero. Yogera ku nsonga ezeetaaga okussaako essira mu kibiina kyammwe okuva mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2006. Bategeeze nti omulabirizi w’essomero tasaanidde kutegeeza abawuliriza ensonga ey’okuwabulirwako omuyizi gy’agenda okukolako. Okuva bwe kiri nti tujja kumaliriza okusoma Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okuva ku Isaaya essuula 24 okutuuka ku nkomerero ya Malaki mu mwaka 2007, omwaka guno ab’oluganda abanaawa emboozi ez’okunokolayo ebikulu ebibadde mu kusoma Baibuli awamu n’abo abanaabaako bye baddamu, bajja kufuna akakisa ak’okukozesa ebitabo byaffe ebinnyonnyola obunnabbi obuli mu bitabo ebyo ebyogeddwako waggulu. Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri oba basatu okuva mu bano wammanga: omuyizi omuppya, omuyizi omuto akulaakulana obulungi, n’omuyizi alina obumanyirivu. Basabe boogere ku ngeri essomero gye libayambyemu mu buweereza bwabwe ne mu by’omwoyo. Kubiriza bonna okufuba okulaba nti bawa emboozi eziba zibaweereddwa, okubaako bye baddamu mu kitundu eky’okunokolayo ebikulu ebiba mu kusoma Baibuli okwa wiiki era n’okussa mu nkola amagezi agaweebwa buli wiiki okuva mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
Ddak. 20: “Toleka Kwagala kwe Walina Olubereberye.”a Bwe wabaawo obudde obumala, saba abawuliriza babeeko bye boogera ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 86 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 18
Oluyimba 12
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Mukubaganye ebirowoozo ku Kasanduuko k’Ebibuuzo. Yogera ku nteekateeka ez’enjawulo ez’okubuulira nga Ddesemba 25 ne Jjanwali 1.
Ddak. 15: “Ddayo n’Eri Abo Ababa Balaze Okusiima Okutonotono.”b Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baasobola okufunamu endagiriro y’abo abaalaga okusiima bwe baali babuulira embagirawo oba ku nguudo era bawe ebyokulabirako ebirungi ebyava mu kuddayo eri abantu abo. Omuntu omu oba babiri bayinza okutegeka nga bukyali bye banaayogera.
Ddak. 20: “Omwoyo ogw’Obwannakyewa Guleeta Emikisa.”c Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abamanyiddwa olw’okwoleka omwoyo gw’obwannakyewa. Boolese batya omwoyo ogw’obwannakyewa? Nkyukakyuka ki ze baali beetaaga okukola era baazikola batya? Mikisa ki gye bafunye olw’okukola ekyo?
Oluyimba 90 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 25
Oluyimba 76
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 8 oba endala ezituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Ddesemba 1, ne Awake! eya Ddesemba. Ku nkomerero ya buli nnyanjula, buuza ekibuuzo ekireetera oyo awuliriza okulowooza era nga kijja kuddibwamu ku lukyala olunaddako ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina n’Okujjukizibwa.
Ddak. 20: “Olina Ekitundu ky’Obuuliramu Ekikyo ku Bubwo?”d Saba omulabirizi w’obuweereza abategeeze wa ekitundu ekibiina kyammwe kye kibuuliramu gye kikoma, buli luvannyuma lwa bbanga ki lwe musobola okukibuuliramu kyonna, era abategeeze obanga buli mubuulizi asobola okuba n’ekitundu ekikye ky’abuuliramu.
Oluyimba 70 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjanwali 1
Oluyimba 60
Ddak. 7: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe eza Ddesemba. Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: Okuwaayo Lipoota Ekwata ku Ebyo Ebituukiddwako mu Buweereza. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized to Do Jehovah’s Will, okuva ku mutwe omutono oguli ku lupapula 83 okutuuka ku nkomerero y’essuula eyo.
Ddak. 23: “Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2007, “Goberera Kristo!”e Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Kubiriza bonna okwetegekera olukuŋŋaana olwo amangu ddala nga bwe kisoboka.
Oluyimba 48 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.