LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/06 lup. 1
  • Toleka Kwagala kwe Walina Olubereberye

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Toleka Kwagala kwe Walina Olubereberye
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Tokkiriza Kwagala Kwo Kuwola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Tuyinza Tutya Okulaga Muliraanwa Waffe Okwagala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Muzimbibwe Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 12/06 lup. 1

Toleka Kwagala kwe Walina Olubereberye

1 Yesu eyali agulumiziddwa yanenya ekibiina eky’omu Efeso eky’omu kyasa ekyasooka ng’agamba nti: “Nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw’olubereberye.” (Kub. 2:4) Awatali kubuusabuusa, bangi baali balese okwagala okw’olubereberye kwe baalina eri Yakuwa. Bwe twali tuyiga amazima, twafuna okwagala okw’amaanyi eri Katonda ne muliraanwa waffe, era kino kyatuleetera okutegeeza abalala n’obunyiikivu essuubi lyaffe lye twali twakafuna. Kiki ekinaatuyamba obutaleka okwagala kwe twalina olubereberye n’obutaddirira mu buweereza bwaffe?

2 Okwesomesa n’Okubeerawo mu Nkuŋŋaana: Kiki ekyatuleetera okutandika okwagala Katonda ne baliraanwa baffe bwe twali twakayiga amazima? Tebyali ebyo bye twayiga ku Yakuwa okuva mu kusoma Ebyawandiikibwa? (1 Yok. 4:16, 19) N’olwekyo, okwagala kwaffe okusobola ‘okweyongerayongera,’ tuteekwa okweyongera okufuna okumanya okutuufu, nga tusima ‘mu bintu bya Katonda eby’omunda.’​—Baf. 1:9-11; 1 Kol. 2:10, NW.

3 Kiyinza okuba ekizibu ennyo okunywerera ku nteekateeka ennungi ey’okwesomesa mu nnaku zino ez’oluvannyuma ezirimu ebintu bingi ebyeraliikiriza era n’ebiwugula. (2 Tim. 3:1) Tuteekwa okuffisaawo obudde obw’okweriisa emmere ey’eby’omwoyo. Ate era kikulu nnyo okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa naddala nga ‘bwe tulaba ng’olunaku luli lunaatera okutuuka.’​—Beb. 10:24, 25.

4 Obuweereza: Bwe tubuulira n’obunyiikivu kituyamba okweyongera okuba n’okwagala kwe twalina olubereberye eri Katonda. Ate era mu kukola kino, tuba twejjukanya ebisuubizo bya Yakuwa ebyoleka okwagala kwe, era kino kituyamba okukuuma essuubi lyaffe nga ttangaavu era n’okweyongera okuba n’okwagala. Okusobola okuyigiriza amazima ga Baibuli kiba kitwetaagisa okunoonyereza tusobole okugategeera obulungi ffe bennyini era kino kinyweza okukkiriza kwaffe.​—1 Tim. 4:15, 16.

5 Yakuwa agwanidde okuweebwa ebintu byonna nga mw’otwalidde n’okumwagala. (Kub. 4:11) Toleka kwagala kwo kuddirira. Weeyongere okunyweza okwagala kwe walina olubereberye ng’onyiikirira okwesomesa Baibuli, ng’obeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa, era ng’onyiikira okutegeeza abalala ekyo ekisinga okuba eky’omuwendo gy’oli.​—Bar. 10:10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza