LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/06 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 8/06 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Jul. 15

“Olowooza ekiseera kirituuka ne wabaawo gavumenti esobola okugonjoola ebizibu by’abantu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba gavumenti ng’eyo okujja, mu bigambo bye ebiri mu Matayo 6:9, 10. [Soma.] Ka magazini kano kannyonnyola ensonga lwaki Obwakabaka bwa Katonda busingira wala gavumenti z’abantu, era kalaga n’emikisa gye bujja okuleetera abantu.”

Awake! Jul.

Bw’osisinkana omuvubuka, oyinza okugamba: “Abavubuka bangi ab’emyaka gyo balowooza ku ky’okuyingira obufumbo. Olowooza wa we tuyinza okufuna obulagirizi obwesigika obukwata ku nsonga eno? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ani yatandikawo obufumbo. [Soma Matayo 19:6.] Ka magazini kano kalaga egimu ku misingi gya Baibuli egiyinza okutuyamba okuba n’obufumbo obw’essanyu.”

The Watchtower Agu. 1

“Ennaku zino abantu batera okuyisa bannaabwe obubi. Olowooza kyandibadde kityo singa abantu bangi baali bagoberera ebigambo bya Yesu bino? [Soma Matayo 7:12. Muleke abeeko ky’addamu.] Ka magazini kano kalaga okuva mu Baibuli engeri buli muntu gy’ajja okufuna ekitiibwa kye eky’obwebange.”

Awake! Agu.

“Buli omu ayagala okubeera omulamu obulungi. Obadde okimanyi nti abasawo bangi ebiro bino tebakyamala gawa bantu musaayi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka magazini kano kannyonnyola ensonga lwaki kiri bwe kityo. Ate era kannyonnyola okuva mu Baibuli ensonga lwaki Katonda atwala omusaayi nga gwa muwendo.” Soma Eby’Abaleevi 17:11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza