Ebirango
◼ Jjuuni: Mugabe akatabo Learn From the Great Teacher, era singa omuntu agamba nti talina baana muyinza okumuwa akatabo Okumanya. Mufube okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Akamu ku butabo buno obw’empapula 32 buyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Nnyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, Katonda Atwetaagisa Ki, ne When Someone You Love Dies. Ssebutemba: Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza ke tujja okugaba. Tusaanidde okufuba ennyo okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi ogusooka. Tusaanidde okuddira buli gwe twawa akatabo nga tulina ekigendererwa eky’okumuyigiriza Baibuli.
◼ Okuva omwezi gwa Jjulaayi bwe gulina wiikendi ttaano, kyandibadde kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi.
◼ Vidiyo eyitibwa Young People Ask—How Can I Make Real Friends? ejja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu lumu ku Nkuŋŋaana z’Obuweereza mu Ssebutemba. Bwe muba temugirina, mugisabe awatali kulwa nga muyitira mu kibiina. Vidiyo gye zitali, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu ssuula 8, olupapula 65, mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work. Bonna bajjukize okuyita mu kitundu kino nga bukyali.