Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 26, 2006. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Maayi 1 okutuuka nga Jjuuni 26, 2006. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Kitegeeza ki okukyusakyusa mu ddoboozi, era lwaki kikulu? [be-LU lup. 111, obusanduuko]
2. Tuyinza tutya okukyusakyusa mu sipiidi bwe tuba twogera eri abantu? [be-LU lup. 112 but. 3-6, akasanduuko]
3. Tuyinza tutya okwogera n’ebbugumu, era lwaki kino kikulu? [be-LU lup. 115 kat. 1–lup. 116 kat. 2, obusanduuko]
4. Bwe tuba tuyigiriza abalala, lwaki kyetaagisa okwoleka omukwano era kino tuyinza kukikola tutya? [be-LU lup. 118 kat. 2–lup. 119 kat. 5]
5. Nnyonnyola obukulu bw’okukozesa ebitundu by’omubiri n’endabika ey’oku maaso bwe tuba twogera. (Mat. 12:48, 49) [be-LU lup. 121, obusanduuko]
EMBOOZI 1
6. Ekitabo kya Yobu kigulumiza kitya Yakuwa era ne kiraga nti okutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu kirungi? [bsi06-LU lup. 13 but. 39, 41]
7. Bujulizi ki obulaga nti ekitabo kya Zabbuli kituufu? [bsi06-LU lup. 16 but. 10-11]
8. Omuntu omutegeevu ayogerwako mu Engero 13:16 y’afaanana atya? Nnyonnyola. [w04 7/15 lup. 28 but. 3-4]
9. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya, era kino kitukubiriza kukola ki? (Yok. 14:25, 26) [be-LU lup. 19 but. 2-3]
10. Yesu ajja mu ngeri ki era ‘kujja’ kwa ngeri ki kwe yali ayogerako mu Matayo 16:28? [w-LU 04 3/1 lup. 29 akasanduuko]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Kiki kye tusobola okuyigira ku bigambo bya Yobu eri Yakuwa ebiri mu Yobu 42:1-6?
12. ‘Kintu ki ekitaliimu nsa’ amawanga kye galowooza? (Zab. 2:1, 2)
13. Wano emisingi egizikirizibwa gye giruwa? (Zab. 11:3)
14. Mu ngeri ki omuntu ow’amalala ‘gy’asasulirwa mu bungi’? (Zab. 31:23)
15. Mu ngeri ki Zabbuli 40 gy’esobola okutuyamba okugumiikiriza obunafu bw’omubiri ogutatuukiridde n’ebizibu eby’enjawulo bye tufuna mu mulembe guno omubi? (Zab. 40:1, 2, 5, 12)