LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/06 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjuuni 12
  • Wiiki Etandika Jjuuni 19
  • Wiiki Etandika Jjuuni 26
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 3
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 6/06 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjuuni 12

Oluyimba 49

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri gye tuyinza okugabamu Watchtower eya Maayi 15 ne Awake! eya Maayi. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi agaba magazini mu kubuulira okw’embagirawo.

Ddak. 20: “Obuweereza Bwaffe​—Mulimu Ogwoleka Obusaasizi.”a Ebiseera bwe biba bikusobozesa, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiragiddwa.

Ddak. 15: Okwesiga ‘Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi.’ Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku ssuula 3 ey’akatabo Organized to Do Jehovah’s Will.

Oluyimba 22 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 19

Oluyimba 8

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

Ddak. 20: Ekigambo Ekijjira mu Ntuuko Zaakyo nga Kirungi! Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Jjanwali 1, 2006, olupapula 16-19. Mu nnyanjula yo yogera ku miganyulo ena egiva mu kusiima abalala, egiri wansi w’omutwe omutono ogugamba nti, “Ebirungi Ebivaamu.” Oluvannyuma saba abawuliriza baddemu ebibuuzo bino: Ani gwe tusaanidde okutendereza okusinga abalala bonna? Lwaki tusaanidde okusiima basinza bannaffe? Mikisa ki gye tuyinza okukozesa okusiima abalala? Lwaki kikulu okusiima ab’omu maka gaffe, era kino tuyinza kukikola tutya? Wawulira otya omuntu omulala bwe yakusiima olw’ekyo kye wali okoze?

Ddak. 15: “Faayo ku Bantu​—Ng’Obasiima.”b Laga ekyokulabirako ekimpimpi ng’omubuulizi awuliriza bulungi oyo gw’abuulira, amusiima olw’okuwa endowooza ye, era oluvannyuma asinziira ku ebyo by’ayogedde okukubaganya naye ebirowoozo ng’akozesa ekyawandiikibwa ekituukirawo.

Oluyimba 53 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 26

Oluyimba 30

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri gye tuyinza okugabamu Watchtower eya Jjuuni 1 ne Awake! eya Jjuuni. Ku nkomerero ya buli kyakulabirako, omubuulizi abuuza ekibuuzo ekijja okuddibwamu ku mulundi omulala ng’akozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.

Ddak. 30: “Lindirira Yakuwa.”c Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Yogera olukuŋŋaana ekibiina kyammwe lwe kinagendamu. Saba abawuliriza boogere ku ngeri okwambala bbaagi ekiseera kyonna nga tugenze mu kifo awanaabeera olukuŋŋaana, gye kiyinza okutuwa akakisa okuwa obujulirwa. Kubiriza abawuliriza okukozesa buli kakisa okubuulira embagirawo era n’okukozesa foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) okusobola okuyamba buli yenna eyandyagadde okumanya ebisingawo.

Oluyimba 91 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 3

Oluyimba 62

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjuuni bwe baba nga tebannakikola.

Ddak. 15: “Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti ‘Okununulibwa Kuli Kumpi!’”d Kakasa nti obutundu bwonna busomebwa.

Ddak. 20: “Engeri gy’Osobola Okutuuka ku Biruubirirwa byo eby’Eby’Omwoyo.”e Saba abavubuka mu kibiina boogere ku biruubirirwa eby’eby’omwoyo bye balina, era ne kye bakola okusobola okubituukako. Funayo omu oba babiri bategeke eby’okuddamu nga bukyali.

Oluyimba 90 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza