LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/06 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 5/06 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Apu. 15

“Kumpi buli omu akkiriza nti empuliziganya ennungi kye kimu ku bintu ebikulu ebisobozesa amaka okubaamu essanyu. Wadde kiri kityo bangi kibazibuwalira okuba n’empuliziganya ennungi. Olowooza lwaki kiri bwe kityo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ewa amagezi agayinza okutuyamba okuba n’empuliziganya ng’eyo.” Soma Yakobo 1:19.

Awake! Apu.

“Abantu bangi bagamba nti omusaalaba gubayamba okuwulira nti bali kumpi ne Katonda. Kyokka abamu beebuuza nti: Ddala kisaanira okusinza ekintu kwe battira Yesu? Ddala Yesu yafiira ku musaalaba? Ekitundu ekitandikira ku lupapula 12 kiddamu ebibuuzo bino nga kisinziira ku Baibuli.” Soma Ebikolwa 5:30.

Awake! May. 1

“Abantu bukadde na bukadde mu nsi yonna babonaabona olw’obwavu. Ggwe olowooza kiki ekiyinza okukolebwa okubayamba? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 1 Peetero 2:21.] Magazini eno ennyonnyola engeri gye tuyinza okugobereramu ekyokulabirako kya Yesu nga tufaayo ku baavu.”

The Watchtower May.

“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki tukaddiwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli ennyonnyola ensonga eyo era eraga n’ekyo Katonda ky’akoze tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. [Soma Isaaya 25:8.] Magazini eno eyogera ku bintu ebiviirako abantu okukaddiwa.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza