Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower May. 15
“Ekibuuzo kino wandikizzeemu otya? [Soma ekibuuzo ekiri kungulu ku magazini. Oluvannyuma omuleke abeeko ky’addamu.] Baibuli etuwa ensonga kwe tusinziira okuba n’essuubi. [Soma Matayo 6:9, 10.] Magazini eno ennyonnyola engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuleetera ebyo Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi.”
Awake! May.
“Olowooza ebyo bye tukola n’ebyo ebinaatutuukako mu biseera eby’omu maaso Katonda yabiteekateeka dda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku lunyiriri lwa Baibuli luno, Katonda akkiriza abantu okweronderawo engeri gye baagala okukozesaamu obulamu bwabwe. [Soma Ekyamateeka 30:19.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.
The Watchtower Jun. 1
“Kumpi buli lunaku tuwulira amawulire agakwata kw’abo abakola ebintu eby’ekivve. [Yogera ku ekyo ekyakabaawo mu kitundu kyammwe.] Wali weebuuzizzaako obanga waliwo amaanyi amabi agaleetera abantu okukola ebintu ng’ebyo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Okubikkulirwa 12:12.] Magazini eno ennyonnyola engeri gye tusobola okufunamu obukuumi.”
Awake! Jun.
“Nnandyagadde okumanya ky’olowooza ku nsonga eno. [Soma 1 Timoseewo 6:10.] Ddala okikkiriza nti abo abeemalidde ku kunoonya eby’obugagga ne ssente ebibaviiramu tebiba birungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola akabi akali mu kunoonya eby’obugagga.”