LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/06 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Apuli 10
  • Wiiki Etandika Apuli 17
  • Wiiki Etandika Apuli 24
  • Wiiki Etandika Maayi 1
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 4/06 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Apuli 10

Weetegereze: Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kajja kubaamu enteekateeka y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa buli wiiki mu kiseera enkuŋŋaana ennene we zinaabeererawo. Ebibiina biyinza okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe, “Okununulibwa Kuli Kumpi!” Bwe kiba kisoboka, mukozese eddakiika 15 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olusembayo nga temunnagenda mu lwa disitulikiti, okwejjukanya ebiri ku lupapula olw’omunda olw’omwezi guno ebituukirawo mu kitundu kyammwe. Nga wayiseewo omwezi gumu oba ebiri oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene, mukozese eddakiika 15 oba 20 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza (oboolyawo nga mukozesa ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina) okwejjukanya ebikulu ebyali mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Kino tekitegeeza nti mulina okwejjukanya programu yonna ey’olukuŋŋaana, wabula ebitundu ebyo byokka ebyali bikwata ku buweereza bw’ennimiro. Saba abawuliriza boogere ku ngeri bye baayiga gye bibaganyudde mu buweereza bwabwe obw’ennimiro.

Oluyimba 12

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 6 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri gye tuyinza okugabamu Watchtower aka Maaki 15 ne Awake! aka Maaki. Mu kimu ku byokulabirako, omubuulizi era alage ng’agabira omuntu asiimye ennyo obubaka bwa Baibuli akatabo Baibuli ky’Eyigiriza.

Ddak. 15: “Engeri y’Okusigala nga Tuli Banyiikivu.”a Yogera ne ku ebyo ebiri mu Watchtower aka Jjuuni 15, 2002, olupapula 14, akatundu 13.

Ddak. 20: “Oyinza Okukyusa mu Nteekateeka Yo?”b Ebyo ebiri mu kitundu kino bituukanye n’ekibiina kyammwe. Yogera ku nteekateeka y’ekibiina kyammwe ey’okubuulira akawungeezi.

Oluyimba 6 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Apuli 17

Oluyimba 15

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku nteekateeka ezikoleddwa ezikwata ku mboozi ey’enjawulo. Bonna bakubirize okweyongera okukozesa ebiri ku lupapula olusembayo olwa Watchtower aka Apuli 1, bwe muba nga mukalina okuyita abayizi ba Baibuli n’abantu abalala abaagala amazima. Babuulireyo ebyokulabirako bibiri oba bisatu ebikwata ku kukozesa Watchtower eyo okuyita abantu okubeerawo ku mboozi ey’enjawulo.

Ddak. 12: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 18: “Okuyigiririza Abantu Baibuli ku Mulyango oba ku Ssimu.”c Lagayo ekyokulabirako ekimpimpi ekiraga omubuulizi ky’ayinza okukola okusobola okutandika okuyigiririza omuntu mu nnyumba.

Oluyimba 70 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Apuli 24

Oluyimba 16

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Mu Maayi tujja kweyongera okugaba Watchtower ne Awake! Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 6 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Apuli 1 ne Awake! aka Apuli. Oluvannyuma lw’ebyokulabirako ebyo, balage ebitundu ebirala ebiri mu magazini ezo ebiyinza okusikiriza abantu abali mu kitundu kye mubuuliramu.

Ddak. 12: Kwogera okwesigamiziddwa ku kitundu ekirina omutwe “Okuwaayo Okusanyusa Omutima gwa Katonda” ekiri mu Watchtower aka Noovemba 1, 2005, olupapula 26-30. Guno gwandibadde mukisa mulungi okujjukiza ekibiina ebyo bye kyali kisazeewo ku kuwagira omulimu gw’ensi yonna n’ogw’okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka.

Ddak. 18: Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku nsonga enkulu eziri mu kitundu “Weeyise mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa Ekitundu 2​—Weegendereze Obulombolombo Obutali bwa Kikristaayo.” Laba olupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2006.

Oluyimba 85 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Maayi 1

Oluyimba 93

Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe eza Apuli. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kasanduuko ku lupapula 4 akagamba “Obasaba Bakubuulire Abalala Abandyagadde Okuyiga?”

Ddak. 10: “Faayo ku Bantu​—Ng’Obatunuulira mu Maaso.”d Mu bufunze, lagayo ekyokulabirako ng’omubuulizi atunuulira omuntu mu kifo ekya lukale, n’atandika okwogera naye, ate oluvannyuma n’amuwa obujulirwa.

Ddak. 15: Fumiitiriza ku Mulimu gwa Yakuwa. (Zab. 77:12) Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku 2006 Yearbook. Yogera ku bintu ebizzaamu amaanyi ebiri mu bbaluwa evudde ku Kakiiko Akafuzi. (lup. 3-5) Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono “Okuvvuunula Baibuli.” (lup. 10-11) Bategeeze ku byokulabirako oba ebintu ebirala ebikulu ebyaliwo omwaka oguwedde. (lup. 6-64) Saba abawuliriza boogere ku nsonga ezibakutte omubabiro nga basoma 2006 Yearbook. Bonna bakubirize okukakozesa okuyamba abayizi ba Baibuli okweyongera okusiima ekibiina kya Yakuwa.

Ddak. 15: Mukubaganye ebirowoozo ku Kasanduuko k’Ebibuuzo.

Oluyimba 37 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza