Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Ddesemba 12
Oluyimba 12
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Noovemba 15, ne Awake! aka Noovemba 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Oluvannyuma lwa buli kyakulabirako, yogera ku ngeri gye kiyinza okubeera ekyangu okukozesa ekyawandiikibwa mu nnyanjula.
Ddak. 15: “Essomero Erituyamba Okuteeka mu Nkola bye Tuyiga.” Kwogera kw’omulabirizi akubiriza essomero. Yogera ne ku ebyo ebiri mu lupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2005.
Ddak. 20: “Obuyigirize Obutuyamba Okutuuka ku Bulamu.”a Kola enteekateeka nga bukyali omubuulizi omu oba babiri boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu buyigirize obuva eri Katonda.
Oluyimba 18 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 19
Oluyimba 69
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Bategeeze enteekateeka ey’enjawulo ey’okubuulira mu Ddesemba nga 25 ne Jjanwali nga 1. Bonna bajjukize okujja ne Awake! aka Jjanwali 2006 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaddako.
Ddak. 15: “Faayo ku Bantu—Nga by’Oyogera Obituukanya n’Embeera Zaabwe.”b Lagayo ekyokulabirako ku ngeri omubuulizi gy’ayinza okutuukanya ennyanjula ye n’ebyo nnyinimu by’ayogera.
Ddak. 25: “Omwana Wo Asobola Okusalawo Obulungi ku Nsonga Enkulu?”c Kya kukubirizibwa omukadde. Buli katundu kasomebwe ow’oluganda amanyi okusoma obulungi. Mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa byonna ebitasimbuliziddwa butereevu. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku katundu ak’okubiri, laga enjawulo eri wakati w’abavubuka ababiri aboogerwako mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 1991, olupapula 22, obutundu 16-17. Ng’ofundikira, kubiriza abazadde okusoma ekitundu ekyo kyonna ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ate amangu ddala bakikubaganyeko ebirowoozo n’abaana baabwe era beegezeemu enfunda n’enfunda ku ngeri gye bayinza okunnyonnyolamu etteeka eryesigamiziddwa ku Baibuli erikwata ku musaayi. Kino kijja kuyamba abaana okunnyonnyola enzikiriza yaabwe awatali kutya. Emitwe gy’amaka balina okukakasa nti buli mwana waabwe omubatize aba n’Ekiwandiiko ky’Enzijanjaba Ekiwa Obulagirizi era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa era nti n’abaana baabwe abato abatannabatizibwa baba ne Kaadi z’Abaana. Omuntu bw’aba ng’aweereddwa ekitanda mu ddwaliro era ng’abasawo baagala okumuteekamu omusaayi, abakadde balina okutuukirira Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro basobole okufuna obuyambi.
Oluyimba 26 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 26
Oluyimba 38
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Jjukiza ababuulizi okuwaayo alipoota zaabwe ez’obuweereza eza Ddesemba. Ekibiina kyammwe bwe kiba nga kinaakyusa ebiseera by’enkuŋŋaana omwaka ogujja, bategeeze ebiseera ebyo. Bategeeze ebitabo ebirina okugabibwa mu Jjanwali, ennyanjula eziyinza okukozesebwa, era ne gye bayinza okuzisanga.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: Ebippya Ebiri mu Awake! Kwogera n’Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Yogera ku nkyukakyuka eziri mu Awake! ezaayogerwako mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2005, olupapula 1, obutundu 5-6. Yogera ne ku ebyo ebiri mu kitundu “To Our Readers” ekiri mu Awake! aka Jjanwali 2006, empapula 3-4. Nokolayo ebyokulabirako ebiraga engeri magazini eno gy’ekubirizaamu abagisoma okukozesa Baibuli. Saba abawuliriza boogere ku bippya ebiri ku lupapula 31. Tujja kweyongera okugabira awamu Watchtower ne Awake! ku lukyala olusooka. Kya lwatu, abo be tuwa magazini buli lwe ziba zizze tujja kubawanga kopi emu eya Awake! eba efulumiziddwa mu mwezi ogwo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Jjanwali 1 ne Awake! aka Jjanwali bwe kaba nga weekali. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali kajja kubaamu ennyanjula endala gye tuyinza okukozesa nga tugaba Awake! aka Jjanwali. Ennyanjula zombi ziyinza okukozesebwa omwezi gwonna.
Oluyimba 100 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjanwali 2
Oluyimba 64
Ddak. 7: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 18: “Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe Ebyesigamiziddwa ku Baibuli.”d Yogera ne ku ebyo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2002, olupapula 1.
Ddak. 20: “Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2006, ‘Okununulibwa Kwaffe Kuli Kumpi Okutuuka’”e Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Kubiriza bonna okweteekerateekera olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga bukyali.
Oluyimba 23 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.