LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 11/05 lup. 1
  • Langirira Ekitiibwa kya Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Langirira Ekitiibwa kya Yakuwa
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Laba Ebirala
  • “Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.”—Zabbuli 96:8.
    “Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.”—Zabbuli 96:8.
  • Muwe Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Okumanyisa Erinnya lya Katonda
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Ka Bonna Balangirire Ekitiibwa kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 11/05 lup. 1

Langirira Ekitiibwa kya Yakuwa

1 Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: ‘Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna. Mulangirire ekitiibwa kye mu mawanga, n’eby’amagero bye mu bantu bonna.’ Bwe tulowooza ku bintu Yakuwa by’akoze, by’akola era ne by’agenda okukola, kitukubiriza okulangirira ekitiibwa kye.​—Zab. 96:1, 3.

2 Mu Buweereza Bwaffe: Abajulirwa ba Yakuwa balina enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Katonda era n’okulitegeeza abantu abalala mu nsi yonna. (Mal. 1:11) Nga baawukana nnyo ku bakulembeze ba Kristendomu abeetulinkiriza ne baggya erinnya lya Katonda mu nzivuunula zaabwe eza Baibuli! Omulimu gw’okumanyisa erinnya lya Katonda gwetaaga okukolebwa mu bwangu, okuva bwe kiri nti abantu balina okukoowoola erinnya eryo okusobola okulokolebwa mu kibonyoobonyo ekinene ekijja. (Bar. 10:13-15) Ate era, okusobola okufuna emirembe mu nsi yonna, kyetaagisa okugulumiza erinnya lya Katonda. Mazima ddala, emirimu gya Katonda gyonna girina akakwate n’erinnya lye.

3 “Mukama mukulu era agwana okutenderezebwa.” Naye abantu okusobola ‘okumuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye,’ balina okumanya amazima agamukwatako. (Zab. 96:4, 8) Kyokka, abamu tebakkiriza nti Katonda gyali. (Zab. 14:1) Abalala bagamba nti munafu, oba nti tafaayo ku bantu. Bwe tuyamba abo abaagala okutegeera obulungi Omutonzi waffe, ebigendererwa bye n’engeri ze ennungi, tuba tugulumiza Yakuwa.

4 Okuyitira mu Mpisa Zaffe: Bwe tutuukanya obulamu bwaffe n’emisingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu, kimuweesa ekitiibwa. Ate era empisa zaffe ennungi zeeyoleka eri abalala. (1 Peet. 2:12) Ng’ekyokulabirako, endabika yaffe ennungi eyinza okuviirako abalala okutwogerako obulungi, ne kituwa akakisa okwogera ku miganyulo egiri mu kugoberera emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda. (1 Tim. 2:9, 10) Nga kitusanyusa nnyo abalala ‘bwe balaba empisa zaffe ennungi, ne bagulumiza Kitaffe ali mu ggulu’!​—Mat. 5:16.

5 Ka tugulumize Katonda waffe buli lunaku mu bigambo era ne mu bikolwa. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba tugoberera ebigambo bino: “Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.”​—Zab. 96:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza