Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Seb. 15
“Abantu bangi okwetooloola ensi bawulidde ebikwata ku Yesu Kristo. Abamu bagamba nti yali muntu buntu omwatiikirivu. Abalala bamusinza nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Gwe olowooza Yesu Kristo yali ani? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku ekyo Yesu kye yali, gye yava, era ne gy’ali kaakano.” Soma Yokaana 17:3.
Awake! Seb. 22
“Abantu bangi tebalina busobozi bwa kufuna wa kubeera walungi. Olowooza ekiseera kirituuka buli omu n’aba n’aw’okusula awalungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno erimu alipoota ekwata ku kizibu ky’eby’ensula. Eraga n’ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti ekisuubizo kya Katonda kino kijja kutuukirira.” Soma Isaaya 65:21, 22.
The Watchtower Okit. 1
Soma ekibuuzo ekiri kungulu ku magazini. Oluvannyuma buuza: “Akabonero akoogerwako wano okamanyi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 24:3.] Magazini eno eyogera ku bintu bitaano ebikulu ebiri mu kabonero kano era n’ensonga lwaki twetaaga okukategeera.” Mulage akasanduuko akali ku lupapula 6.
Awake! Okit. 8
“Okukozesa obubi omwenge kireeta ebizibu bingi. Magazini eno eraga akabi omwenge ke guleeta ku mubiri. [Mulage ekifaananyi ekiri ku lupapula 7.] Ekitundu kino kyogera ku ngeri abantu gye bayinza okulekerawo okukozesa obubi omwenge era n’obuyambi abalala bwe bayinza okubawa.”