LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/05 lup. 7
  • Okwejjukanya Kw’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya Kw’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 10/05 lup. 7

Okwejjukanya Kw’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 31, 2005. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30 nga kwesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Ssebutemba 5 okutuuka nga Okitobba 31, 2005. [Weetegereze: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.​—Laba ekitabo Essomero ly’Omulimu, emp. 36-7.]

ENGERI ENNUNGI EZ’OKWOGERAMU

1. Tusobola tutya okukakasa nti bye tuyigiriza abantu okuva mu Kigambo kya Katonda bituuka ku mitima gyabwe? (Mat. 13:19) [be-LU lup. 258 but. 1-2, akasanduuko] Tuteekwa okufuba okutuuka abantu ku mitima, kwe kugamba, nga bye tuyigiriza bibaako kye bikola ku nneewulira yaabwe ne ku biruubirirwa byabwe, bwe tukola bwe tutyo, tubayamba okufuna enkolagana ey’okulusegere ne Katonda. Ekiyinza okutuyamba okukola kino kwe kumanya ebiri ku mitima gy’abantu. Ate era tusaanidde okubayamba okukulaakulanya engeri ennungi nga, okwagala, n’okutya Katonda. Kiba kikulu nnyo okutuuka abantu ku mitima, kubanga kibasobozesa okukola ebintu ebisanyusa Yakuwa.

2. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya ebiri ku mutima gw’omuntu, naye kiki kye tusaanidde okujjukira? [be-LU lup. 258 kat. 5–lup 259 kat. 1] Ebibuuzo nga, “Olina ndowooza ki ku . . . ?” oba “Kiki ekyakuleetera okukkiriza nti . . . ?” bireetera omuntu okufumiitiriza, era biyamba omusomesa okumanya ebiri ku mutima gw’omuyizi. Omusomesa bw’aba abuuza ebibuuzo, kimwetaagisa okukozesa amagezi omuyizi aleme kulowooza nti ayingirira eddembe lye. Omusomesa ow’amagezi awuliriza bulungi okusobola okumanya endowooza y’omuyizi, era n’akozesa bulungi Baibuli okumukubiriza okubaako ky’akolawo. (Nge. 16:23)

3. Bwe tuba tuyigiriza, lwaki kikulu nnyo okussa essira ku ngeri za Yakuwa? [be-LU lup. 260 kat. 1] Okussa essira ku ngeri za Yakuwa, gamba nga, obulungi, obusaasizi, n’ekisa, bireetera omuntu okukwatibwako era n’okwagala Katonda. Bwe tuwaayo ebiseera okuyamba abatuwuliriza okufumiitiriza ku ngeri za Yakuwa, kibasobozesa okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. Okuva bwe twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, okwogera ku ngeri ze ennungi kijja kukwata ku mitima gy’abantu. (Lub. 1:27)

4. Tusobola tutya okuyamba abayizi baffe aba Baibuli okutegeera we kibeetaagisa okulongoosaamu? [be-LU lup. 260 but. 4-5] Tusaanidde okubategeeza nti enneeyisa yaabwe erina kinene nnyo ky’ekola ku nkolagana yaabwe ne Katonda. Engeri gye beeyisaamu esobola okunyiiza oba okusanyusa Omutonzi. (Zab. 78:40-42; Nge. 27:11) Tusobola okuyamba abayizi baffe aba Baibuli okumanya emiganyulo egiva mu kugondera amateeka ga Katonda, n’obutatunuulira buwulize ng’omugugu, wabula okubutwala ng’engeri gye tulagamu nti twemalidde ku Yakuwa. (Zab. 19:11; Is. 48:17)

5. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba abayizi baffe aba Baibuli oba abantu ababa batuwuliriza okumanya ebiruubirirwa bye baba nabyo nga balina kye bagenda okukola? [be-LU lup. 262 but. 1-2] Bwe tuba tuyigiriza, tusaanidde okukubiriza abayizi baffe oba abo abatuwuliriza okwebuuza: ‘Lwaki njagala okukola bwenti? Kye ŋŋenda okukola kinaalaga nti nsiima ebyo Yakuwa by’ankoledde? Kyo kituufu nti, nnyinza okuba nga ŋŋondera amateeka ga Katonda, naye ndowooza ki gye ngalinako?’ (Zab. 37:4) Tusaanidde okukubiriza abayizi baffe aba Baibuli okusaba Yakuwa abawe amaanyi n’okukkiriza basobole okuwa ekitiibwa erinnya lye ekkulu. (Zab. 86:11)

EMBOOZI 1

6. Kitegeeza ki ‘okunoonya’ Yakuwa, era tuyinza tutya okulaga nti tumunoonya? (Beb. 11:6) [w03 8/15 lup. 25 kat. 2; lup. 26 but. 1-2; lup. 27 kat. 2] ‘Okunoonya’ kuzingiramu okufuba ennyo ‘n’okunyiikira’ okukola Katonda by’ayagala. (Luk. 11:8; 1 Yok. 5:14) Tusobola okulaga nti tunoonya okusiimibwa Yakuwa nga twenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’eby’omwoyo. Muno muyinza okuzingiramu okweteekerateekera obulungi enkuŋŋaana, okulongoosa mu buweereza bwaffe, n’okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

7. “Ekyokulabirako eky’ebigambo eby’obulamu” kye kiruwa, era abakadde basobola batya okukinywererako? (2 Tim. 1:13, 14) [w03 1/1 lup. 29 kat. 3–lup. 30 kat. 1] Mu 1 Timoseewo 6:3, Pawulo ayogera ku ‘bigambo eby’obulamu’ ng’ebyo ‘ebya Mukama waffe Yesu Kristo.’ Okuva ebigambo bya Yesu bwe bituukagana ‘n’Ebyawandiikibwa byonna ebyaluŋŋamizibwa Katonda, era ebigasa okutuyigirizanga,’ ‘ekyokulabirako ky’ebigambo eby’obulamu’ kitegeeza enjigiriza za Baibuli zonna. (2 Tim. 3:16, 17) Abakadde basaanidde okunywerera ku Kigambo kya Katonda bwe baba nga bayigiriza mu kibiina. Tebasaanidde kuyigiriza endowooza z’abantu oba ezaabwe ku bwabwe. (2 Tim. 4:2) Ate era tusaanidde okugoberera omusingi gwe gumu ogwo bwe tuba nga tuyigiriza wabweru w’ekibiina. (2 Tim. 4:5)

8. Ebigambo “Ebitabo ebituufu ebirina okuba mu Baibuli,” bitegeeza ki, era bintu ki ebisinziirwako okulaga obutuufu bwa buli kitabo ekiri mu Baibuli? [4, bsi05-LU lup. 3 but. 4-5] Ebigambo “Ebitabo ebituufu ebirina okuba mu Baibuli,” bitegeeza olukalala lw’ebitabo bya Baibuli ebikkirizibwa nti bituufu era nti byaluŋŋamizibwa. Ebimu ku bintu ebiraga obutuufu bwa buli kitabo ekiri mu Baibuli bye bino: Kiteekwa okuba nga kyogera ku ebyo Yakuwa bye yakola ku nsi, kikubiriza abantu okumusinza, kibaleetera okussa ekitiibwa mu linnya lye, era n’okumuwa ekitiibwa olw’emirimu gye n’ebigendererwa bye eri ensi. Ekitabo kiteekwa okuba nga kiwa obukakafu obulaga nti kyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. Tekiteekwa kubaamu kintu kyonna ekireetera omuntu okukkiririza mu bulombolombo obukyamu, oba okusinza ekitonde kyonna, wabula kiteekwa okuba nga kimukubiriza okwagala Katonda n’okumuweereza.

9. Lwaki Ekiwandiiko kya Muratori, ekyawandiikibwa ku nkomerero y’ekyasa eky’okubiri C.E., kya mugaso nnyo mu kulaga obutuufu bw’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani? [bsi05-LU lup. 8 kat. 18] Ekiwandiiko kino ekiri mu Lulatini kyogera ku Lukka ng’Enjiri ey’okusatu, ekitegeeza nti kyasooka kwogera ku Matayo ne Makko. Ate era kyogera ku Yokaana nga “ekitabo ky’Enjiri eky’okuna.” Ekiwandiiko kino kyogera ku bbaluwa omutume Pawulo ze yawandiikira ebibiina era n’abantu kinnoomu. Ate era kyogera ne ku bitabo ebirala eby’omu Baibuli ebikkirizibwa ne leero nti bituufu.

10. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti si kikyamu okuvvuunula Baibuli, era enzivuunula za Baibuli ezaasooka zituyambye kumanya ki? [si lup. 307 kat. 9] Ebigambo Katonda bye yagamba Abaisiraeri nti “Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n’abantu Be,” n’obunnabbi Yesu bwe yawa nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibuuliddwa mu nsi yonna okuba omujulirwa mu mawanga gonna, biraga nti kisaanira okuvvuunula Baibuli. (Ma. 32:43; Mat. 24:14) Enzivuunula z’emizingo egy’edda, ziwa obukakafu obulaga nti zavvuunulwa mu ngeri entuufu ddala okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka.

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Ddala 2 Bassekabaka 13:21 luwagira eky’okusinza ebisigala by’abafu? Ekyogerwako mu lunyiriri luno kyali kyamagero ekikwata ku magumba g’omu ku bannabbi ba Katonda. Okuva Erisa bwe yali afudde era nga ‘taliiko ky’amanyi’ mu kiseera ekyamagero ekyo we kyabeererawo, Yakuwa Katonda ateekwa okuba nga ye yakola ekyamagero ekyo eky’okuzuukira ng’ayitira mu mwoyo gwe omutukuvu oba amaanyi ge agakola. (Mub. 9:5, 10) Ate era, Ebyawandiikibwa tebiraga nti amagumba ga Erisa gaasinzibwanga. [1, w05 8/1 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka Ekyokubiri”]

12. Ddala Keezeekiya obwesige yali abutadde mu Misiri? (2 Bassek. 18:19-21, 25) Nedda, Labusake bye yali ayogera byali bya bulimba, era nga bwe yalimba nti ‘Yakuwa ye yali amusindise.’ Kabaka Keezeekiya omwesigwa yeesiga Yakuwa n’omutima gwe gwonna. [2, w05 8/1 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu​—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka Ekyokubiri”]

13. Wadde ng’ebyafaayo bya Bwasuli tebyogera ku ngeri Yakuwa gye yawangulamu Sennakeribu, kiki ekikuwuniikiriza bw’osoma ebiri mu byafaayo ebyo? (2 Bassek. 19:35, 36) Ebyafaayo bya Sennakeribu ebiwandiikiddwa ku jjinja eriyitibwa ­“Oriental Institute Prism” n’eryo eriyitibwa “Taylor Prism,” bigamba bwe biti: “Keezeekiya Omuyudaaya, teyagondera kikoligo kyange, kye nnava nzingiza ebibuga bye eby’amaanyi 46 ebiriko enkomera, enkambi eziriko ebisenge ebiwanvu, n’ebyalo bingi nnyo ebibiriraanye, ne mbiwangula . . . Ate ye ne mmusibira mu Yerusaalemi ekibuga kye.” Sennakeribu yagamba nti ‘ettutumu ly’obufuzi’ bwe lyatiisa nnyo Keezeekiya. Kyokka, teyayogerako nti yakwata Keezeekiya oba okuwamba Yerusaalemi nga bwe yayogera ku ‘bibuga eby’amaanyi’ ‘n’ebyalo.’ Buno bukakafu obulaga obutuufu bw’ebyo ebiwandiikiddwa mu Baibuli ebikwata ku kuzikirizibwa kw’amagye ga Sennakeribu ag’amaanyi. [3, w88 2/15 lup. 28 kat. 2]

14. Ani yali taata wa Seyalutyeri? (1 Byom. 3:16-18) Nga lukwatagana ne Matayo 1:12, Bassekabaka Ekisooka 3:17, lulaga nti Yekoniya (Kabaka Yekoyakini) ye yali taata wa Seyalutyeri. Kyokka, Lukka omuwandiisi w’Enjiri, Seyalutyera yamuyita ‘mwana wa Neeri.’ (Luk. 3:27) Kirabika, Seyalutyeri yawasa muwala wa Neeri. Okuva Abebbulaniya bwe baatwalanga omuntu awasizza muwala waabwe nga mutabani waabwe, naddala mu nkalala eziraga obuzaale, Lukka yali asobola okugamba nti Seyalutyeri, yali mutabani wa Neeri. Mu ngeri y’emu, Lukka yayogera ku Yusufu nga mutabani wa Eri, so ng’ate Eri yali kitaawe wa mukazi we Malyamu. (Luk. 3:23) [5, w92 7/15 emp. 5-6]

15. Mu nnaku za Kabaka Sawulo, ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baateerawo batya abantu ba Katonda leero ekyokulabirako ekirungi? (1 Byom. 5:18-22) Nga batuukiriza ekyo Yakuwa kye yali asuubizza jjajjaabwe Ibulayimu, baafuba nnyo ne bagaziya ensi yaabwe okusukka ensi ya Giriyaadi. (Lub. 15:18) Wadde nga kino kyaleeta obukuubagano wakati waabwe n’Abakaguli, Abaisiraeri bano beeyongera okulwana newakubadde ng’abalabe baabwe baali babasinga obungi. Abaisiraeri bano baali 44,760 gyokka, naye mu kulwanagana okwaliwo baawamba abasibe 100,000. Abasibe bano si be bokka abaali mu ggye ly’Abakaguli, kubanga Baibuli egamba nti ‘bangi battibwa.’ Kya lwatu, ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu kya Manase baali tebasobola kutuuka ku buwanguzi mu maanyi gaabwe, era tebaawangula mu maanyi gaabwe. Beesiga Yakuwa Katonda okubayamba.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza