LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 9/05 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Ssebutemba 12
  • Wiiki Etandika Ssebutemba 19
  • Wiiki Etandika Ssebutemba 26
  • Wiiki Etandika Okitobba 3
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 9/05 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Ssebutemba 12

Oluyimba 11

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba nga bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Agusito 15 ne Awake! aka Agusito 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Omukadde w’ekibiina alage ekyokulabirako ekimu, ate ekirala omuvubuka y’aba akiraga. Buli luvannyuma lw’ekyokulabirako, yogera ku bintu ebirungi ebikibaddemu.

Ddak. 20: “Kozesa Bulungi Ebiseera Byo.”a Saba abakuwuliriza boogere ku ngeri gye bateekateekamu ebiseera byabwe okusobola okusoma Baibuli buli lunaku. Kubiriza ab’omu maka era n’abalala kinnoomu okukozesa olupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maayi 2005 okusobola okukola enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo.

Ddak. 15: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana.”b Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitundu1 ne 2 ebiri ku lupapula olw’omunda. Oyinza n’okweyambisa ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2004 olupapula 1. Lwaki kikulu okuteekateeka obulungi buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi wa Baibuli? Ekyo kizingiramu ki? Saba abakuwuliriza boogere ku ngeri gye beeyambisizzaamu amagezi agaabaweebwa. Fundikira ng’oyogera ku ebyo ebiri mu kasanduuko akali waggulu ku lupapula olw’omunda ku muko ogusooka.

Oluyimba 46 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Ssebutemba 19

Oluyimba 74

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku nsonga enkulu eziri mu bbaluwa okuva ku ttabi, eri ku lupapula olusooka olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

Ddak. 20: Twakola Tutya Omwaka Oguwedde? Omulabirizi w’obuweereza ayogera ku ebyo ebyakolebwa mu mwaka gw’obuweereza oguwedde, ng’essira asinga kuliteeka ku bintu ebirungi ebyakolebwa mu buweereza. Weebaze ekibiina olw’ebintu ebirungi ebikoleddwa. Yogera ku kintu kimu oba bibiri ebirina okukolebwako omwaka ogujja. Yogera ku mulimu omulungi bapayoniya gwe bakola era obeebaze. Yogera ku birungi ebyava mu kuyamba abo abaali batakyabuulira.

Ddak. 15: “Muzimbaganenga.”c Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwamu olw’okufiibwako abalala.

Oluyimba 15 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Ssebutemba 26

Oluyimba 12

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti essente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Ssebutemba.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20: Okubuulira Amawulire Amalungi nga Tukozesa Magazini. Mu mwezi gwa Okitobba tujja kugaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Mu nnyanjula yo, yogera ku birowoozo bino wammanga ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2005 olupapula 8, obutundu 3-6: (1) Magazini zombi zigabire wamu. (2) Tegekawo olunaku lumu buli wiiki olw’okugabirako magazini. (3) Weeteerewo ekiruubirirwa eky’omuwendo gwa magazini z’onoogaba buli mwezi. (4) Kozesa buli kakisa k’ofuna okugaba magazini. (5) Gaba magazini enkadde. Kubiriza abakuwuliriza okukozesa obulungi ebirowoozo bino. Oluvannyuma laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Ssebutemba 1 ne Awake! aka Ssebutemba 8 nga weeyambisa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi guno (bwe biba nga bituukirawo mu kitundu kyammwe). Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Ate era yogera ne ku bitundu ebirala ebiri mu magazini ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu, era olage engeri y’okuzigabamu ng’okozesa ekimu ku bitundu ebyo. Buli luvannyuma lw’ekyokulabirako, yogera ku bintu ebirungi ebikibaddemu.

Oluyimba 1 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 3

Oluyimba 47

Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 20: “Yamba Abalala Okuba ‘Abawulize Okuviira Ddala mu Mutima.’”d Ebiseera bwe biba bibasobozesa, saba abakuwuliriza boogere ku byawandiikibwa ebitasimbuliziddwa butereevu okuva mu Baibuli.

Ddak. 20: Okusanyusa Omutima gwa Yakuwa. (Nge. 27:11) Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri oba basatu abaweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala ekiseera ekiwanvu. Saba buli omu ayogere ku kintu kimu oba bibiri ebimuyambye okusigala nga muwulize eri Yakuwa. Ebimu ku bintu bye bayinza okwogerako, kwe kunyiikira okwesomesa Baibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, okubeera awamu n’abantu abalala abeesigwa, okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, okunyiikira okusaba, era n’okwewala eby’okwesanyusa ebikyamu. Bigezo ki bye baayolekagana nabyo era baasobola batya okubivvuunuka? Mikisa ki gye bafunye olw’okuba abawulize?

Oluyimba 92 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza