Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
WEETEGEREZE: Oluvannyuma lw’omwezi gumu oba ebiri ng’Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Obuwulize eri Katonda” luwedde, tujja kukozesa eddakiika 15 oba 20 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza (tuyinza okukozesa ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina) okwejjukanya ensonga enkulu ezaayogerwako mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, ababuulizi ze beeyambisizza mu buweereza bw’ennimiro. Ekitundu kino eky’enjawulo ekinaabeera mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza kijja kutuwa akakisa okunnyonnyola engeri gye tweyambisaamu ebyo bye twayiga mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti era n’engeri gye bituyambye okuba ababuulizi abalungi.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2005 lup. 2.
Wiiki Etandika Agusito 8
Oluyimba 32
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Jjukiza ababuulizi ennaku z’omwezi olukuŋŋaana lw’ekitundu n’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza 2006 we zinaabeererawo, bwe ziba nga zimanyiddwa.
Ddak. 10: “Okozesa Obupapula Obuyita Abantu Okubaawo mu Nkuŋŋaana?” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Saba abawuliriza boogere ku birungi ebivudde mu kukozesa obupapula obuyita abantu okubaawo mu nkuŋŋaana. Laga n’eky’okulabirako mu bufunze ng’omubuulizi akozesa akapapula ako okuyita omuntu ayagala okumanya ebisingawo, okubaawo mu lukuŋŋaana.
Ddak. 25: “Kino kye Kiseera Okubuulira!”a Teekateeka nga bukyali payoniya ow’ekiseera kyonna omu oba babiri boogere ku nkyukakyuka ze baakola okusobola okuweereza nga bapayoniya era n’ebirungi ebivuddemu.
Oluyimba 52 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 15
Oluyimba 12
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjulaayi 15 ne Awake! aka Jjulaayi 22. Bwe kiba kituukirawo, laga ekyokulabirako ng’omukadde n’omubuulizi ateesobola bulungi olw’obulwadde oba obukadde nga bakozesa essimu okubuulira. Essimu bwe ziba nga tezikozesebwa mu kubuulira mu kitundu kyammwe, laga ekyokulabirako eky’engeri endala ez’okubuulira, abantu abateesobola olw’obulwadde oba obukadde ze bakozesa, gamba nga, okuyiga n’omuyizi wa Baibuli ajja awaka oba okugaba magazini nga batudde mu bifo abantu we batera okuyita.
Ddak. 15: Ojjukira? Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Apuli 15, 2005 ku lupapula 30. Basabe boogere ku buli kibuuzo. Laga emiganyulo egiri mu kitundu ekyo. Kubiriza bonna okusoma n’obwegendereza buli Watchtower ne Awake! eba efulumiziddwa.
Ddak. 20: “Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli nga Muyimiridde ku Mulyango, ng’Okozesa Essimu oba Okuyitira mu Bbaluwa.”b Laga ekyokulabirako mu bufunze ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ku mulundi gwe tuba tusoose okwogera naye nga tusoma akatundu kamu oba bubiri mu brocuwa Atwetaagisa. Waayo ekyokulabirako kimu oba bibiri ekikwata ku kutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga tukozesa essimu oba ebbaluwa.
Oluyimba 63 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 22
Oluyimba 31
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Yogera ku Amawulire ga Teyokulase era obategeeze nti essente eziweebwayo kyeyagalire zikozesebwa mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Okubuulira Amawulire ag’Obwakabaka—Nkizo ya Muwendo.”c Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, mwejjukanye enteekateeka eyakolerwa bannamukadde oba abo abalwadde okuwaayo eddakiika 15 ku lipoota y’obuweereza.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2002, lup. 8, kat. 6.
Oluyimba 90 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Agusito 29
Oluyimba 20
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Agusito. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba nga bituukirawo mu kitundu kyammwe), laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Agusito 1 ne Awake! aka Agusito 8. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi addayo eri omuntu gw’atera okutwalira magazini.
Ddak. 15: “Okuwa Obujulirwa Awatali Kigambo”d Saba abamu ku babuulizi boogere engeri empisa ennungi ez’abaweereza ba Katonda ggye zaabayamba okutandika okuweereza Yakuwa.
Ddak. 20: Kozesa Baibuli lw’Osoose Okwogera n’Omuntu. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Yogera ku birowoozo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2004 ku lupapula 6, akatundu 2 awalaga engeri y’okukozesaamu Ekigambo kya Katonda lw’osoose okwogera n’omuntu. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri ennyanjula ezo bwe ziyinza okukozesebwa nga tugaba ebitabo ebirina okugabibwa mu mwezi gwa Ssebutemba. Ennyanjula eziri mu kapapula ak’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005 eziraga engeri y’okugabamu obutabo, nazo ziyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo era n’eky’okulabirako kiyinza okulagibwa obudde bwe buba nga bubasobozesezza.
Oluyimba 30 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 5
Oluyimba 51
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana—Ekitundu 12.”e Kola enteekateeka nga bukyali omubuulizi omu oba babiri boogere ku kyabayamba okufuna abantu be bayigiriza Baibuli.
Ddak. 20: Okukola Enteekateeka Okuyamba Bannamukadde. Kwogera kw’omukadde okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Agusito 15, 1993, olupapula 28-9, wansi w’omutwe ogugamba nti “Organizing Is Valuable” (Kikulu Nnyo Okukola Enteekateeka). Bategeeze enteekateeka ezikoleddwa mu kibiina okuyamba abalwadde ne bannamukadde.
Oluyimba 72 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kussukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kussukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kussukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kussukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kussukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.