Brocuwa ze Tuyinza Okuwa Abantu Abatali Bakristaayo
Lasting Peace and Happiness—How to Find Them Bw’oba ng’obuulira omuyizi Omucaayina, oyinza okugamba:
◼ “Nkisanze ng’abayizi bonna baagala emirembe n’essanyu. Gwe muli owulira ng’ebintu bino bikulu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Tekyandibadde kya ssanyu nnyo singa ebigambo bino eby’edda bituukirizibwa?” Soma Zabbuli 37:11, era omugabire brocuwa.—km 2/98 lup. 5.
“Look! I Am Making All Things New” Omuntu ow’enzikiriza ya Budda omukulu mu myaka oyinza okumugamba bw’oti:
◼ “Okufaananako nga nze, oyinza okuba nga weeraliikirira olw’ebirowoozo eby’obugwenyufu ebicaase era ne kye biyinza okukola ku baana baffe. Lwaki obugwenyufu bweyongedde nnyo mu bavubuka? [Muleke abeeko kyaddamu.] Obadde okimanyi nti kino kyalagulwa dda mu kitabo ekyatandika okuwandiikibwa ng’eddiini y’Ekisiraamu, ey’Ekikristaayo, ne ya Bahindu tezinnabaawo? [Soma 2 Timoseewo 3:1-3.] Weetegereze nti ebintu ebyo weebiri wadde ng’abantu beeyongera okuyigirizibwa. [Soma olunyiriri 7.] Akatabo kano kannyamba okutegeera amazima abantu abasinga obungi ge batamanyi. Wandyagadde okukasoma?”—km 8/99 lup. 8.
Why Should We Worship God in Love and Truth? Ennyanjula eno eyinza okusikiriza Omuhindu alina amaka:
◼ “Nkyalira abantu abanakuwavu olw’embeera embi eri mu maka mu bitundu bingi leero. Olowooza kiki ekiyinza okugatta awamu amaka? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu abamu bamanyi ekitabo ky’enzikiriza y’Abahindu kye kyogera ku maka, naye tebafunanga kakisa kugeraageranya kitabo ekyo n’ekyo Baibuli kyeyogera ku nsonga eno. Njagadde okwogerako naawe ku nsonga eno. [Soma Abakkolosaayi 3:12-14.] Brocuwa eno eyogera ku biwandiiko ebitukuvu eby’omu buyindi n’eby’omu Baibuli.” Muwe brocuwa, era mulage ebiri ku mpapula 8-9 ne 20-1.—km 9/99 lup. 8.
Our Problems—Who Will Help Us Solve Them? Oyinza okwogera bw’oti eri Omuhindu omuvubuka:
◼ “Awatali kubuusabuusa okkiririza mu Katonda. Olowooza Katonda alina kigendererwa ki gye tuli? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Olubereberye 1:28.] Mu bitundu bingi eby’ensi mulimu omujjuzo gw’abantu era boolekagana n’ebizibu. Olowooza Omutonzi ayagala okutuyamba okugonjoola ebizibu bye twolekaganye nabyo?” Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma muwe brocuwa.—km 9/99 lup. 8.
Will There Ever Be a World Without War? Bw’oba obuulira Omuyudaaya oyinza okugamba:
◼ “Bangi ku ffe twali tufiiriddwako omwagalwa waffe. Olowooza kiki ekitutuukako bwe tufa?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage akasanduuko akalina omutwe, “Death and the Soul—What Are They?” akali ku lupapula 22. Soma akatundu 17 akali ku lupapula 23 akakwata ku kuzuukira. Mutegeeze nti Yobu yali akkiririza mu ssuubi ery’okuzuukira. Muwe brocuwa, era kola enteekateeka okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebiri ku nkomerero y’akatundu 17.—km 10/99 lup. 8.
The Guidance of God—Our Way to Paradise Bw’oba oyogera n’Omusiraamu oyinza okugamba:
◼ “Leero ntambuddeko nga njogerako n’Abasiraamu. Nkimanyi bulungi nti abasiraamu bakkiririza mu Katonda omu ow’amazima era ne mu bannabbi bonna. Si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu.] Nandyagadde okwogerako naawe ku bunnabbi obw’edda obwogera ku kufuula ensi eno olusuku lwa Katonda. Nkusomere ekyo nnabbi kye yawandiika? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Isaaya 11:6-9.] Obunnabbi buno bundeetera okulowooza ku kyawandiikibwa ekiri mu Kolaani era ekyogerwako ne mu brocuwa eno.” Bikkula olupapula 9, era soma ebigambo ebiri mu nnukuta enkwafu. Bw’aba alaze okusiima, mweyongere okukubaganya ebirowoozo ku butundu 7-9 obuli ku lupapula oluddako.—km 11/99 lup. 8.