Ebirango
◼ Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereta Olusuku lwa Katonda, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, Katonda Atwetaagisa Ki, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okuba nga ze zisaana okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, ne Will There Ever Be a World Without War? Akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo nako kasobola okugabibwa naddala mu bitundu ebyesudde. Ssebutemba: Obutabo Is There a Creator Who Cares About You?, Okumanya okukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo, brocuwa ey’empapula 32 Beera Bulindaala!, oba obutabo obulala bwonna obwakubibwa edda obuli mu kibiina buyinza okugabibwa. Okitobba: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zijja kugabibwa mu mwezi gwonna. Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, oyinza okumuwa brocuwa Atwetaagisa, era n’okola enteekateeka okutandika okumuyigiriza Baibuli.
◼ Okutandika ne Ssebutemba, abalabirizi b’ebitundu bajja kuwa emboozi ya bonna erina omutwe ogugamba nti: “Lwaki twandigoberedde obulagirizi bwa Baibuli?”
◼ Foomu okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo esaanidde okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi nga wabulayo ennaku 30 olunaku oyo ayagala okukola nga payoniya lw’ayagala okutandikirako lutuuke. Nga foomu eno tennaweerezebwa, omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okugyekenneenya okukakasa nti ejjuziddwamu bulungi. Abo abasaba bwe baba nga tebakyajjukira lunaku lwe baabatizibwako, bandiruteeberezza era ne baluwandiika basobole okulujjukira. Omuwandiisi asaanidde okuwandiika olunaku olwo ku kaadi eyitibwa Congregation’s Publisher Record. (S-21)
◼ Abawandiisi b’ebibiina basaanidde okubeera n’ebbaluwa eyitibwa Pioneer Appointment Letter (S-202) eya buli Payoniya owa bulijjo mu kibiina. Singa baba tebazirina basaanidde okuwandiikira ofiisi y’ettabi.