LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/05 lup. 4
  • Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa Okugaba Brocuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa Okugaba Brocuwa
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Emitwe emitono
  • Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?
  • Bw’omala okwogera ku mawulire amabi agaabaddewo oyinza okugamba:
  • Bw’oddayo, oyinza okugamba:
  • Omubuulizi akyali omutiini ayinza okugamba:
  • Bw’oddayo, oyinza okugamba:
  • Bw’oba ng’obuulidde n’omwana omuto, osobola okwanjula bw’oti:
  • Bwe muddayo, omubuulizi omukulu mu myaka ayinza okugamba:
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 7/05 lup. 4

Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa Okugaba Brocuwa

Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?

Bw’omala okwogera ku mawulire amabi agaabaddewo oyinza okugamba:

“Wali weebuuzizza: Katonda bw’aba nga ddala atufaako, lwaki aleka abantu okubonaabona? [Muleke abeeko ky’addamu.] Brocuwa eno eddamu ekibuuzo ekyo mu ngeri ematiza era n’eraga Katonda ky’anaakola mu biseera eby’omu maaso. [Mulage ekifaananyi ekiri ku lupapula 27 era osome Zabbuli 145:16 okuva ku katundu 22.] Katonda anaamalawo atya okubonaabona okuliwo kati? Nandyagadde tukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekyo lwe naakomawo.” Muwe brocuwa era okole enteekateeka okuddayo.

Bw’oddayo, oyinza okugamba:

“Lwe nnali wano, twasoma ekyawandiikibwa kino. [Soma oba juliza Zabbuli 145:16.] Oluvannyuma ne nkubuuza ekibuuzo ekyali kigamba nti: Katonda anaamalawo atya okubonaabona okuliwo kati?” Musabe aleete akatabo ke. Oluvannyuma bikkula ku mpapula 27-8, mukubaganye ebirowoozo ku butundu 23-5. Mutegeeze ku nteekateeka ey’okumuyigiriza Baibuli oba teekateeka okukubaganya naye ebirowoozo ku butundu 26-7 lw’onaddayo.

Omubuulizi akyali omutiini ayinza okugamba:

“Abantu bangi ab’emyaka gyange baagala okumanya ensi bw’eneebeera mu myaka 10 oba 15. Gwe olowooza obulamu bunaaba butya mu kiseera ekyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ebizibu ebiriwo leero biraga nti tuli mu nnaku za luvannyuma. [Soma 2 Timoseewo 3:1-3.] Brocuwa eno eddamu ebibuuzo bino. [Soma ebibuuzo ebiri ku ddiba ly’akatabo era omuwe brocuwa.] Bwe nnaakomawo ng’olina ku biseera, tujja kwogera ku ngeri obulwadde n’obukadde gye bunaamalibwawo.” Kola enteekateeka okuddayo.

Bw’oddayo, oyinza okugamba:

“Lwe nnali wano, nnakugamba nti tujja kwogera ku ngeri obulwadde n’obukadde gye binaamalibwawo. Ebintu ebyo byogerwako wano.” Musabe aleete akatabo ke, musome era mukubaganye ebirowoozo ku butundu 6-7 ku mpapula 23-4 eza brocuwa. Kola enteekateeka okukubaganya naye ebirowoozo ku butundu 8-9 lw’onaddayo.

Bw’oba ng’obuulidde n’omwana omuto, osobola okwanjula bw’oti:

“Bw’oba wandyagadde, ________ mwetegefu okukusomerayo ekyawandiikibwa. [Omwana asoma Zabbuli 37:29 n’abaako ebigambo ebitono by’annyonnyola.] Brocuwa eno ennyonnyola engeri Katonda gy’anaatuukirizaamu ekigendererwa kye eri abantu n’ensi. [Mulage ebifaananyi ebiri ku mpapula 24-7.] Bwe tunaakomawo, nja kukulaga ekisuubizo kya Baibuli ekirungi ennyo ekikwata ku kuzuukira.” Mugabire brocuwa era okole enteekateeka okuddayo.

Bwe muddayo, omubuulizi omukulu mu myaka ayinza okugamba:

“Lwe nnali wano, twasoma Zabbuli 37:29, era ne nkugamba nti nja kukulaga Baibuli ky’eyogera ku kuzuukira. Weetegereze wano bwe wagamba.” Musabe aleete akatabo ke era mukubaganye ebirowoozo ku butundu 12-14 ku mpapula 24-5. Mutegeeze ku nteekateeka ey’okumuyigiriza Baibuli oba kola enteekateeka oddeyo mukubaganye ebirowoozo ku butundu 15-16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza