Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjun. 15
“Abasinga obungi ku ffe, ekiseera eky’obulamu bwaffe ekisinga obunene tujja kukimala nga tukola. Kino abamu bakitunuulira ng’ekintu ekirungi ate abalala ng’ekikolimo. Ggwe okukirowoozaako otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Omubuulizi 2:24.] Magazini eno eraga engeri Baibuli gy’eyinza okutuyambamu okuba n’endowooza entuufu ku bikwata ku kukola. Ate era ennyonnyola engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu bye tufuna nga tukola.”
Awake! Jjun. 22
“Olowooza abantu b’omu kitundu kyaffe bandibadde bulungi singa buli omu yali agoberera ebigambo bino? [Soma Abaefeso 4:28. Oluvannyuma omuleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri ffenna gye tukosebwamu olw’ebintu ebibbibwa mu maduuka. Ate era eraga engeri okubba ebintu mu maduuka awamu n’obumenyi bw’amateeka obw’engeri endala gye bijja okukomezebwamu.”
The Watchtower Jjul. 1
“Ffenna tulina abantu be tumanyi abalabika ng’abali obulungi naye ate nga bawulira nti balina ekibabulako. Olowooza kiki ekiba kibabulako? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 5:3.] Magazini eno ennyonnyola nti ekintu ekikulu ekiyinza okuviirako omuntu okufuna emirembe mu birowoozo, kwe kukola ku bwetaavu bwe obw’eby’omwoyo.”
Awake! Jjul. 8
“Olw’okuvuganya okw’amaanyi okuliwo leero, abantu bangi tebalina mirimu. Magazini eno eraga ebintu bitaano ebiyinza okuyamba omuntu okufuna omulimu. [Mulage omutwe omutono oguli mu nnukuta enkwafu ogugamba nti “Ebintu Ebitaano Ebiyinza Okuyamba Omuntu Okufuna Omulimu.”] Ate era ewa amagezi amalungi agayinza okuyamba omuntu obutafiirwa mulimu gwe.” Soma Engero 22:29, ekyawandiikibwa ekijuliziddwa ku lupapula 10.