Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower May. 1
“Okweyongerayongera kw’obutyabaga kuleetedde abamu okulowooza nti oboolyawo Katonda abukozesa okutubonereza. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 1 Yokaana 4:8.] Ekitundu kino kinnyonnyola ensonga lwaki Katonda si y’avunaanyizibwa ku kubonaabona okuleetebwa obutyabaga.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 30.
Awake! May.
Soma Matayo 6:10. Oluvannyuma mubuuze: “Wali weebuuzizzaako biki Katonda by’ayagala bikolebwe ku nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku Baibuli, Katonda yatonda ensi ng’alina ekigendererwa era ekigendererwa ekyo tekikyukanga. Ekitundu kino kinnyonnyola ensonga eno.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
The Watchtower Jun. 1
“Olumu ku ngero za Baibuli ezimanyiddwa obulungi lwe lwa Nuuwa n’Amataba. Olowooza ddala Amataba gaaliwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kyetegereze nti Yesu yagoogerako ng’ekintu ekyaliwo ddala. [Soma Lukka 17:26, 27.] Magazini eno ewa ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti amataba ddala gaaliwo, era eraga kye tusobola okuyigira ku mataba ago.”
Awake! Jun.
“Si kyangu okukuza omwana, naddala bw’atuuka mu myaka egya kabuvubuka, mw’afunira enkyukakyuka ez’amaanyi. Ggwe olowooza abazadde bayinza kuggya wa amagezi ageesigika? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Isaaya 48:17, 18.] Magazini eno erimu ebirowoozo ebirungi ebisobola okuyamba abazadde okukozesa amagezi n’okutegeera nga bakuza abaana baabwe.”