Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Weetegereze: Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kajja kubaamu enteekateeka y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza buli wiiki mu kiseera enkuŋŋaana za disitulikiti we zinaabeererawo. Ebibiina biyinza okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Obuwulize eri Katonda.” Bwe kiba kisoboka, mukozese eddakiika 15 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olusembayo nga temunnagenda mu lwa Disitulikiti, okwejjukanya ebiri mu lupapula olw’omunda olw’omwezi guno ebituukirawo mu kitundu kyammwe. Nga wayiseewo omwezi gumu oba ebiri oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene, mukozese eddakiika15 oba 20 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza (oboolyawo nga mukozesa ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina) okwejjukanya ebikulu ebyali mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti ababuulizi bye basanze nga bya muganyulo mu buweereza bw’ennimiro. Okusobola okweteekerateekera okwejjukanya okwo, ffenna tuyinza okuwandiika ensonga enkulu ze twagala okweyambisa mu buweereza bw’ennimiro. Olukuŋŋaana olwo olw’Obuweereza olw’enjawulo lujja kutuwa akakisa okunnyonnyola engeri gye tukozesaamu ebyo bye twayiga mu lukuŋŋaana olunene n’engeri gye kituyambyemu okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe. Kijja kutuzzaamu amaanyi okuwulira engeri abamu gye bakozesezzaamu obulungi amagezi ge baafuna mu lukuŋŋaana olwo era kijja kukubiriza abalala okussa mu nkola okubuulirira n’amagezi agaaweebwa mu lukuŋŋaana olwa disitulikiti.
Wiiki Etandika Jjuuni 13
Oluyimba 13
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Maayi 15 ne Awake! aka Maayi 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okugabamu magazini mu kubuulira okw’embagirawo.
Ddak. 15: Yamba Abalala Okufuuka Ababuulizi Abatali Babatize. Kwogera kw’omukadde n’okukubaganya ebirowoozo nga byesigamiziddwa ku katabo Organized to Do Jehovah’s Will, empapula 79-81. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri y’okumanyamu oba ng’omuyizi wa Baibuli atuukiriza ebisaanyizo eby’omu Byawandiikibwa ebimusobozesa okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro awamu n’ekibiina. Wiiki ejja tujja kwetegereza engeri gye tuyinza okutendekamu abayizi ba Baibuli abatuukiriza ebisaanyizo eby’okubeera ababuulizi abatali babatize okutandika okubuulira nnyumba ku nnyumba.
Ddak. 20: “Okubuulira Kutuyamba Okugumiikiriza.”a Saba abawuliriza okwogera ku byawandiikibwa ebiweereddwa ng’ebiseera bwe biba bibasobozesa.
Oluyimba 52 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 20
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Mwejjukanye ensonga enkulu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi 2003, olupapula 4. Nnyonnyola engeri ababuulizi gye bayinza okufunamu ebitabo by’olulimi olugwira. Laga engeri ensonga ezo gye ziyinza okukozesebwamu mu kitundu kyammwe. Ebitabo byonna ebiri mu lulimi olugwira birina kusabibwa okuyitira mu muweereza akola ku bitabo, ka kibe kitabo kimu, kisobozese ebitabo ebyetaagibwa okufunibwa amangu.
Ddak. 15: Ekigambo kya Katonda Kisobola Okukyusa Abantu. (Beb. 4:12) Mboozi nga yeesigamiziddwa ku Watchtower, aka Ddesemba 1, 2003, olupapula 9-10, obutundu 13-17. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri okubuulirira kwa Baibuli gye kuyinza okukyusa obulamu bw’abantu. (w00 1/1 emp. 3-5) Kubiriza bonna okukozesa obulungi Baibuli mu buweereza bw’ennimiro.
Ddak. 20: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana—Ekitundu 10.”b Laga ekyokulabirako ng’omuyizi yeegezaamu ennyanjula. Ng’omuyizi yeegezaamu mu nnyanjula, amusomesa akola nga nnyini nnyumba, amubuuza ekibuuzo abantu kye batera okubuuza, omuyizi bw’aba teyeekakasa kyakuddamu, amusomesa amunnyonnyola engeri y’okukiddamu. Okugatta ku ekyo, tegeeza omubuulizi omu oba babiri nga bukyali boogere ku kutendekebwa kwe baafuna nga baakatandika okubuulira nnyumba ku nnyumba.
Oluyimba 30 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 27
Oluyimba 48
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjuuni. Soma alipoota y’eby’embalirira era beebaze olw’okuwaayo kwabwe. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 6 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjuuni 1 oba Awake! aka Jjuuni 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Oluvannyuma lw’ekyokulabirako, nokolayo ebigambo ebikozeseddwa okusikiriza nnyinimu.
Ddak. 30: “Tendereza Yakuwa mu Kibiina Ekinene.” Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Bategeeze olukuŋŋaana olunene ekibiina kyammwe lwe kinaagendamu. Obutundu obulina ennamba bukubirize nga bwe kibeera mu Okuyiga okw’Omunaala gw’Omukuumi. Wabeewo asoma obutundu. Yogera ku biri mu kasanduuko akalina omutwe “Okujjukizibwa Ebikwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti.”
Oluyimba 23 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjulaayi 4
Oluyimba 32
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: Oganyulwa mu Nteekateeka y’Amaka? Mwejjukanye ebirowoozo ebiri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maayi 2005, era saba abawuliriza boogera ku ngeri gye bafubyemu okussa mu nkola ebirowoozo ebyo n’emiganyulo gye bafunyemu.
Ddak. 20: “Okubuulira Obulungi mu Bifo Ebya Lukale.”c Laga engeri ebiri mu kitundu kino gye biyinza okukozesebwamu mu kitundu kyammwe. Jjukiza ababuulizi okukozesa foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) bwe kiba kyetaagisa.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2005, lup. 6.
Oluyimba 22 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.