Ebirango
◼ Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oba oddayo eri abo abaalaga okusiima, nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala olw’enjawulo kyokka nga tebajjumbira nkuŋŋaana za kibiina, bawe akatabo Sinza Katonda. Wandibadde n’ekigendererwa eky’okuddamu okubayigiriza Baibuli, naddala abo abaamala okusoma akatabo Okumanya ne Atwetaagisa. Jjuuni: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher naye abo abagamba nti tebalina baana, tujja kubawa akatabo Okumanya. Fuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, The Government That Will Bring Paradise, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, Katonda Atwetaagisa Ki?, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War? Akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo nako kasobola okugabibwa naddala mu bitundu ebitatera kubuulirwamu.
◼ Omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Jjuuni 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Bwe kiba nti waliwo ssente eziweebwayo okuddaabiriza oba okuzimba ekizimbe ky’obwakabaka, enteekateeka zirina okukolebwa okwekenneenya ebiwandiiko ebikwata ku ssente ezo. Nga kino kimaze okukolebwa, mutegeeze ekibiina nga musoma lipoota y’eby’embalirira eddako.