Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Maayi 9
Oluyimba 97
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Apuli 15 ne Awake! aka Apuli 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Mu kimu ku byokulabirako, laga ng’omubuulizi agaba magazini mu kubuulira okw’embagirawo ng’ali mu ntambula eya lukale.
Ddak. 15: Kozesa Ekigambo kya Katonda Okutuuka ku Mitima gy’Abantu. Kwogera okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Febwali 1, 2005, empapula 28-31. Nnyonnyola engeri Yesu gye yakozesaamu Ebyawandiikibwa okuyamba Peetero. Nnyonnyola engeri gye tuyinza okukoppamu Yesu singa wabaawo obwetaavu bw’okukyusa endowooza n’enneewulira y’abaana baffe, ey’abayizi baffe aba Baibuli era n’eyaffe.
Ddak. 20: “Kola Enteekateeka y’Amaka Ennungi.” Mu nnyanjula etasukka ddakiika bbiri, yogera ku bukulu bw’okubeera n’enteekateeka eri mu buwandiike era onnyonnyole n’engeri y’okujjuzaamu enteekateeka eri ku lupapula 6. Oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo ku kitundu. “Enteekateeka y’Amaka—Enkuŋŋaana z’Ekibiina.” Saba abakuwuliriza boogere ku ngeri gye batakkiriza bintu birala kuyingirira biseera byabwe eby’okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ebirala ebikwata ku nteekateeka y’amaka bijja kwogerwako mu wiiki ezinaddirira.
Oluyimba 13 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 16
Oluyimba 89
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: “Enteekateeka y’Amaka—Okubuulira Awamu ng’Amaka.”a Saba abakuwuliriza boogere ku miganyulo egiri mu butayosa kubuulira wamu ng’amaka.
Ddak. 20: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana—Ekitundu 9.”b Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, yogerayo ku nsonga emu oba bbiri okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ddesemba 2004, ku lupapula 8. Mu bufunze lagayo ekyokulabirako ku ngeri y’okuyigirizaamu omuntu Baibuli. Ng’essomo 2 liwedde mu brocuwa Atwetaagisa, akubiriza okusoma abuuza omuyizi: “Wandinnyonnyodde otya mukwano gwo erinnya lya Katonda?” Omuyizi annyonnyola engeri gy’ayinza okukozesaamu Zabbuli 83:18, oluvannyuma akubiriza okusoma amwebaza.
Oluyimba 90 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 23
Oluyimba 87
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe), laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Maayi 1 ne Awake! aka Maayi 8. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa.
Ddak. 18: “Olunaku lwa Yakuwa Luli Kumpi.”c Ng’oteekateeka ekitundu kino, kozesa ebiri mu katabo Obunnabbi bwa Danyeri, olupapula 59, akatundu 28.
Ddak. 15: “Enteekateeka y’Amaka—Okusoma kw’Amaka.”d Kola enteekateeka nga bukyali, ow’oluganda omu oba babiri boogere ku ngeri gye bakolamu enteekateeka ey’okusoma kw’amaka gaabwe era n’engeri gye kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okuginywererako.
Oluyimba 65 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 30
Oluyimba 84
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maayi. Babuulire ebitabo eby’okugaba mu Jjuuni. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugaba ebitabo ebyo ng’okozesa ennyanjula emu oba bbiri eziri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005 (bwe ziba zituukirawo mu kitundu kyammwe). Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa.
Ddak. 20: “Enteekateeka y’Amaka—Okwekenneenya Ekyawandiikibwa eky’Olunaku.”e Saba abakuwuliriza boogere ku miganyulo gye bafuna bwe basomera awamu ekyawandiikibwa eky’olunaku ng’amaka era n’enteekateeka esinga okubanguyira.
Ddak. 15: Yogera oba lagira ddala ebintu ebyaliwo mu buweereza bw’ennimiro mu Maaki, Apuli ne Maayi. Teekateeka nga bukyali ow’oluganda omu oba babiri boogere ku ngeri gye baafubamu okugaziya obuweereza bwabwe mu kiseera eky’Ekijjukizo era n’ebirungi ebyavaamu.
Oluyimba 94 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 6
Oluyimba 66
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Yamba Abantu b’Otera Okutwalira Magazini Okuyiga Amazima.”f Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, yogera ne ku ebyo ebiri mu katabo Reasoning empapula 227-32. Ebiri mu katabo ako biyinza okukozesebwa okuteekateeka ekyawandiikibwa kye munaakubaganyaako ebirowoozo ekiraga ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukola. Laga ekyokulabirako ku ngeri omubuulizi gy’ayinza okukozesaamu ekyawandiikibwa kimu okukubaganya ebirowoozo n’oyo gw’atera okutwalira magazini. Mu bufunze, omubuulizi asaanidde okunnyonnyola ekyawandiikibwa ekyo era n’okulaga nnyinimu engeri gye kiyinza okumuyamba mu bulamu bwe.
Oluyimba 46 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
f By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.