Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Ddesemba 13
Oluyimba 22
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Bwe kiba kyetaagisa, kubiriza bonna okulaba vidiyo No Blood—Medicine Meets the Challenge nga beetegekera okukubaganya ebirowoozo wiiki ejja. Yogera ku nteekateeka ez’okubuulira okw’enjawulo mu Ddesemba 25 ne Jjanwali 1. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8, (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Noovemba 15 ne Awake! aka Noovemba 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Mu buli kyakulabirako laga engeri ey’enjawulo ey’okuddamu abo abagamba nti “Omulimu gwe mukola ngumanyi.”—Laba akatabo Reasoning, olupapula 20.
Ddak. 15: “Obuyambi bwo Bwetaagibwa.”a Buuza omukadde ebibuuzo. Musabe ayogere ku kyamuleetera okwagala okuweereza ng’omukadde mu kibiina era n’ekyamuyamba okutuukiriza ebisaanyizo eby’okuweereza ng’omukadde.
Ddak. 20: “Tuyinza Tutya Okubuulira ab’Eŋŋanda Zaffe?”b Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye basobodde okusikirizaamu ab’eŋŋanda zaabwe eri amazima era n’okubabuulira.
Oluyimba 30 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 20
Oluyimba 61
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: “Engeri Essomero ly’Omulimu gwa Katonda gye Lituganyulamu.” Kwogera kw’oyo akubiriza essomero. Yogera ne ku ebyo ebiri ku lupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2004. Tegeeza omuntu omu oba babiri nga bukyali boogere ku ngeri gye baganyulwa mu ssomero lino.
Ddak. 25: Mukubaganye ebirowoozo ku Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 1999 akalina omutwe, “Weetegekedde Embeera Eyeetaagisa Obujjanjabi obw’Amangu?” Oba, vidiyo gye ziri, mukubaganye ebirowoozo n’abawuliriza ku kitundu ekirina omutwe “Ganyulwa mu Vidiyo No Blood—Medicine Meets the Challenge.” Mukubaganye ebirowoozo ku vidiyo eyitibwa No Blood nga mukozesa ebibuuzo ebiweereddwa ku lupapula 6. Oluvannyuma soma akatundu akasembayo. Kubiriza bonna okubaawo wiiki ejja nga tukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebituyamba okwewala omusaayi.
Oluyimba 24 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 27
Oluyimba 45
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Ddesemba. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe), laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Ddesemba 1 oba Awake! aka Ddesemba 8.
Ddak. 25: Okugondera Ekiragiro kya Katonda eky’Okwewala Omusaayi. Kwogera kw’omukadde ng’akozesa ekiwandiiko okuva ku ofiisi y’ettabi. Kyogererewo ku ntandikwa nti Ebiwandiiko by’Enzijanjaba Ebiwa Obulagirizi era Ebiggyako Obuvunaanyizibwa tebirina kujjuzibwa ku olwo. Ng’asoma ekiwandiiko ekivudde ku ofiisi y’ettabi, omwogezi ayinza okubaako n’ebirala by’ayogera okuggumiza ensonga enkulu, naye talina kwongeramu byakulabirako oba byawandiikibwa birala. Ebyawandiikibwa ebiweereddwa biyinza okusomebwa oba okwogerwako ng’ebiseera bwe biba bibasobozesezza. We kisaanira, yogera ku ebyo ebiri mu kasanduuko akalina omutwe, “Enteekateeka ey’Okutuyamba Okwewala Omusaayi.” Omuwandiisi w’ekibiina alina okugabira ababuulizi ababatize Ebiwandiiko by’Enzijanjaba Ebiwa Obulagirizi era Ebiggyako Obuvunaanyizibwa, bwe baba beetaaga ebippya. Omuwandiisi w’ekibiina era alina okukakasa nti kaadi z’abaana weeziri ezimala.
Ddak. 10: Obukulu bw’Omuntu wo ow’Omunda. Okwogera kw’omukadde, okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2004, empapula 17-18, obutundu 16-19. Kiggumize nti bye tulina okusalawo ebizingiramu omuntu waffe ow’omunda bikulu nnyo, okuva bwe bikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa.
Oluyimba 4 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjanwali 3
Oluyimba 16
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku bitabo ebinaagabibwa mu Jjanwali. Amawulire ga Teyokulase ne “Ebikulu Okuva mu Mwaka gw’Obuweereza Ogwa 2004.”
Ddak. 15: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana—Ekitundu 4.” Oluvannyuma lw’ennyanjula etasukka ddakiika emu eyeesigamiziddwa ku katundu 1, mulageeyo ekyokulabirako kya ddakiika ttaano nga kyesigamiziddwa ku butundu 2-3. Mu kyokulabirako ekyo omusomesa alaga omuyizi engeri y’okutegekamu bye bagenda okuyiga. Kozesa akatundu akali mu katabo Okumanya oba mu brocuwa Atwetaagisa mu kyokulabirako. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku butundu 2-5 nga mukozesa ebibuuzo, era essira liteekebwe ku nsonga enkulu ezibadde mu kyokulabirako.
Ddak. 15: “Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa ‘Okugondera Katonda’ mu 2005.”c Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Kubiriza bonna okweteekerateekera olukuŋŋaana nga bukyali.
Oluyimba 35 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.