Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Okitobba 1-17: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Omuntu bw’alaga nti ayagala okuyiga naffe, muwe brocuwa Atwetaagisa, era fuba okutandika okumuyigiriza Baibuli. Okitobba 18–Noovemba 14: Tujja kuba ne kaweefube ow’enjawulo ow’okugaba brocuwa Beera Bulindaala! Noovemba 15-30: Mugabe ekitabo Learn From the Great Teacher. Abantu bwe bagamba nti tebalina baana, mubawe brocuwa Atwetaagisa. Mufube okulaba nti mukozesa brocuwa eyo okufuna ab’okuyigiriza Baibuli. Ddesemba: Mugabe ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba muyinza okugaba ebitabo ebirala, nga The Bible—God’s Word or Man’s, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, ne Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku Lwa Katonda ku Nsi.
◼ “Enteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda mu 2005” esangibwa ku lupapula oluli munda mu katabo kano aka Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, era tusaanidde okugitereka obulungi kubanga ejja kukozesebwa mu mwaka gwonna ogwa 2005.
◼ Ofiisi y’ettabi tekola ku kusaba kw’ebitabo okw’ababuulizi kinnoomu. Akubiriza akakiiko k’abakadde asaanidde okukola enteekateeka ekirango kisomebwe buli mwezi ng’okusaba kw’ebitabo okw’ekibiina okwa buli mwezi tekunnaweerezebwa ku ttabi, abo bonna abaagala ebitabo basobole okutegeeza ow’oluganda abikolako. Musabibwa okwetegereza ebitabo ebisabibwa mu ngeri ey’enjawulo.