LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 9/04 lup. 5
  • Tuteekwa Okugondera Abo Yakuwa b’Awadde Obuyinza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tuteekwa Okugondera Abo Yakuwa b’Awadde Obuyinza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Laba Ebirala
  • Gondera Abo Katonda b’Awadde Obuyinza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera?
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Musse Ekitiibwa mu Baweereddwa Obuyinza ku Mmwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Baajeemera Yakuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 9/04 lup. 5

Tuteekwa Okugondera Abo Yakuwa b’Awadde Obuyinza

Kiki ekikujjira mu birowoozo bw’owulira amannya nga Koola, Dasani ne Abiraamu? Obujeemu! Baajeemera ani? Abo Yakuwa be yali awadde obuyinza. Ebikwata ku nneeyisa yaabwe embi byogerwako mu kitabo ky’Okubala essuula 16 era ne mu kitundu ekiri mu Watchtower aka Agusito 1, 2002, ekirina omutwe ogugamba nti: “Gondera Abo Katonda b’Awadde Obuyinza.” Ojja kuganyulwa nnyo bw’onoosoma ekitundu ekyo era n’olaba ne vidiyo ekwata ku kitundu ekyo erina omutwe, Respect Jehovah’s Authority. Ojja kulaba obutakkaanya obwaliwo wakati w’abaana ba Koola abeesigwa ne kitaabwe eyajeemera Omufuzi ow’obutonde bwonna. (Kubal. 26:9-11) Omuzannyo guno ogulaga ebyo ebyaliwo ddala, gujja kutukubiriza ffenna okweyongera okubeera abeesigwa eri Yakuwa.

Bw’oba ng’olaba vidiyo eno, weetegereze engeri Koola ne banne abajeemu gye baalemererwa okubeera abeesigwa mu ngeri mukaaga enkulu ezeeyolekera mu bibuuzo bino: (1) Baanyoma batya abo Katonda be yali awadde obuyinza? (2) Mu ngeri ki gye baatwalirizibwamu amalala, ettutumu, awamu n’obuggya? (3) Baakuliriza batya obutali butuukirivu bw’abo Yakuwa be yali alonze? (4) Baatandika kwemulugunya ku ki? (5) Lwaki tebaali bamativu n’enkizo ey’okuweereza gye baalina? (6) Mu ngeri ki gye baagondera ab’emikwano n’abeŋŋanda okusinga Katonda?

Weetegereze engeri ebyo bye tuyize mu muzannyo guno ogw’esigamiziddwa ku Baibuli gye biyinza okutuleetera okugondera abo Katonda b’awadde obuyinza leero: (1) Twandyeyisizza tutya abakadde bwe baba nga balina kye basazeewo mu kibiina era lwaki? (2) Tuyinza tutya okweggyamu ebiruubirirwa ebikyamu bye tuyinza okuba nabyo? (3) Twanditunuulidde tutya obutali butuukirivu bw’abo abalondeddwa okutwala obukulembeze? (4) Twandikoze ki singa tuba tutandise okufuna omwoyo ogw’okwemulugunya? (5) Twanditutte tutya enkizo ze tuba tuweereddwa? (6) Nga tukuuma obwesigwa bwaffe eri Katonda, b’ani be tutanditadde mu kifo ekisooka, era ddi kino lwe kiyinza okuba ekigezo eky’amaanyi?

Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga zino mu kibiina, lwaki toddamu kulaba vidiyo eno? Ka vidiyo eyo eyongere okukukubiriza okulowooza ennyo ku nsonga lwaki tulina okugondera abo Yakuwa b’awadde obuyinza!​—Zab. 18:25; 37:28.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza