Ebirango
◼ Ssebutemba: Is There a Creator Who Cares About You? Oba tuyinza okugaba Life—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation? (ebinene oba ebitono), oba Revelation—Its Grand Climax At Hand! Okitobba: Tujja kugaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Tujja kutegeezebwa ebisingawo oluvannyuma okusobola okukakasa nti magazini ezifunibwa zigabibwa. Bwe wabaawo asiimye obubaka bwaffe, muwe brocuwa Atwetaagisa era oddeyo n’ekigendererwa eky’okutandika okumuyigiriza Baibuli. Noovemba: Mugabe ekitabo Learn From the Great Teacher. Singa abamu bagamba nti tebalina baana, bawe brocuwa Atwetaagisa. Kozesa brocuwa eno okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Ddesemba: Mugabe ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba mukozese ebitabo ebirala nga The Bible—God’s Word or Man’s, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, ne Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi.
◼ Vidiyo eyitibwa No Blood—Medicine Meets the Challenge ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Ddesemba. Bwe wabaawo abazeetaaga, muyinza okuziragiriza mu bwangu ddala okuyitira mu kibiina.
◼ Emboozi ey’enjawulo ey’ekiseera eky’Ekijjukizo mu 2005 ejja kuweebwa ku Ssande, nga Apuli 10. Mujja kutegeezebwa omutwe gw’emboozi eno oluvannyuma. Ebibiina ebinaaba n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu oba ebinaaba n’olukuŋŋaana olunene wiikendi eyo, bijja kufuna emboozi ey’enjawulo ku wiikendi eddako. Tewali kibiina ekirina okufuna emboozi eno nga Ssande, Apuli 10, 2005 terunnatuuka.
◼ Foomu eyitibwa Kingdom Hall Maintenance/Safety Checklist (CN-14) erina okujjuzibwamu Akakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka buli Ssebutemba era kagikolemu kopi, oluvannyuma emu kagiweereze ku ofiisi y’ettabi. Omulabirizi w’ekitundu bw’anaakyalira ekibiina ajja kwekenneenya foomu eyo.
◼ Abakadde bajjukizibwa okugoberera obulagirizi obuli mu Watchtower aka Apuli 15, 1991, empapula 21-3 obukwata ku muntu yenna eyagobebwa oba eyeeyawula ku kibiina ng’ayagala okukomezebwawo.
◼ Kikulu okuwa ab’oluganda magazini za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! amangu ddala nga zaakafunibwa. Kino kijja kubasobozesa okumanya ebizirimu nga tebannaba kuzigaba mu buweereza bw’ennimiro.
◼ Okuva omwezi gwa Okitobba bwe gulina wiikendi ttaano, gwandibadde mwezi mulungi okukola ng’omubeezi wa payoniya.